Okuba Abalamu mu Kristo
1 Kale tunaagamba tutya? Tweyongere okwonoona, olwo ekisa kya Katonda kiryoke kyeyongere? 2 Kikafuuwe, kubanga ffe abaafa eri ekibi tuyinza tutya okweyongera okukikola? 3 Oba temumanyi nga bonna bwe baabatizibwa mu Yesu Kristo, baafiira wamu naye? 4 Bwe twabatizibwa twaziikibwa wamu ne Kristo. Nga Kristo bwe yazuukizibwa okuva mu bafu olw’ekitiibwa kya Kitaawe, naffe twafuna obulamu obuggya, era bwe tutyo tutambulirenga mu bulamu obwo obuggya.
5 Obanga twegatta wamu naye mu kifaananyi eky’okufa kwe, bwe tutyo bwe tulyegattira awamu naye mu kuzuukira kwe. 6 Tumanyi kino nti omuntu waffe ow’edda yakomererwa wamu naye ku musaalaba, omubiri gw’ekibi guleme kuba gwa mugaso, tuleme kuddamu kuba baddu ba kibi. 7 Omuntu bw’afa aba takyafugibwa kibi.
8 Naye obanga twafiira wamu ne Kristo, tukkiriza nga tuliba balamu wamu naye 9 Tumanyi nti, nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu, takyafa nate, okufa tekukyamufuga. 10 Okufa kwe yafa eri ekibi, yafa omulundi gumu, naye kaakano mulamu era mulamu ku bwa Katonda.