Publicidade

Romanos 6

2 Kikafuuwe, kubanga ffe abaafa eri ekibi tuyinza tutya okweyongera okukikola? 3 Oba temumanyi nga bonna bwe baabatizibwa mu Yesu Kristo, baafiira wamu naye? 4 Bwe twabatizibwa twaziikibwa wamu ne Kristo. Nga Kristo bwe yazuukizibwa okuva mu bafu olw’ekitiibwa kya Kitaawe, naffe twafuna obulamu obuggya, era bwe tutyo tutambulirenga mu bulamu obwo obuggya.

5 Obanga twegatta wamu naye mu kifaananyi eky’okufa kwe, bwe tutyo bwe tulyegattira awamu naye mu kuzuukira kwe. 6 Tumanyi kino nti omuntu waffe ow’edda yakomererwa wamu naye ku musaalaba, omubiri gw’ekibi guleme kuba gwa mugaso, tuleme kuddamu kuba baddu ba kibi. 7 Omuntu bw’afa aba takyafugibwa kibi.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-22_10-02-25-