Publicidade

Romanos 8

36 Kyawandiikibwa nti:

"Ku lulwo tutiisibwatiisibwa n’okuttibwa obudde okuziba,

era tubalibwa ng’endiga ez’okusalibwa."

37 Naye mu bino byonna tuwangudde n’okukirawo ku bw’oyo eyatwagala. 38 Kubanga nkakasiza ddala nga newaakubadde okufa, wadde obulamu, wadde bamalayika, wadde abafuzi, wadde ebiriwo, wadde ebigenda okujja, wadde amaanyi, 39 wadde obugulumivu, wadde okukka wansi, wadde ekitonde ekirala kyonna, tewali kiriyinza kutwawukanya n’okwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-19_11-20-24-