20 Bwe yawulira ekyo, n’abaddamu nti, "Temumpita Nawomi, naye mumpite Mala, kubanga Ayinzabyonna yalumya obulamu bwange n’okukaawa bunkayiridde. 21 Nagenda nnina ebintu bingi, naye Mukama Katonda ankomezzaawo nga sirina kantu, kale lwaki mumpita Nawomi? Mukama ambonerezza. Ayinzabyonna yandeetera okubonaabona."