3 Naye Erimereki bba wa Nawomi n’afa; nnamwandu Nawomi n’asigalawo ne batabani be bombi. 4 Batabani be baawasa ku bakazi Abamowaabu, omu Olupa, n’omulala Luusi, ne babeera eyo okumala emyaka nga kkumi.
5 Oluvannyuma Maloni ne Kiriyoni ne bafa, Nawomi n’asigala nga talina baana wadde bba.