Pular para o conteúdo
Publicidade

Luusi 2:2,3,10-12

2 Awo Luusi Omumowaabu n’agamba Nawomi nti, "Ka ŋŋende mu nnimiro okulonda ebirimba bya sayiri, ngoberere oyo anankwatirwa ekisa2:2 Okulonda emmere y’empeke esigaridde mu nnimiro kyali kya bannamwandu, n’abaana enfuuzi, n’abagenyi (Lv 19:9; 23:22; Ma 24:19)." Nawomi n’amuddamu nti, "Genda, muwala wange." 3 Amangwago, n’agenda, n’atandika okulonda mu nnimiro abakunguzi we bayise. Awo ne yesanga ng’atuuse mu nnimiro ya Bowaazi, ow’omu kika kya Erimereki.

10 Awo Luusi bwe yawulira ebyo, n’avuunama ku ttaka, ng’agamba nti, "Ng’ondaze ekisa mu maaso go, n’onfaako nze, munnaggwanga." 11 Naye Bowaazi n’addamu nti, "By’okoledde nnyazaala wo kasookedde balo afa, ne bwe waleka kitaawo ne nnyoko era n’abantu bo n’ojja mu nsi ey’abantu botomanyi, babintegezezza byonna. 12 Mukama Katonda wa Isirayiri gwe weeyuna wansi w’ebiwaawaatiro bye, akusasule olw’ebyo by’okoze. MukamaKatonda wa Isirayiri, oyo gwe weewagamye wansi w’ebiwawaatiro bye, akuwe empeera ennene ddala."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

Rute
Ver todos os capítulos de Rute