Pular para o conteúdo
Publicidade

Luusi 3:1,4,9-13,15

Luusi mu Gguuliro lya Bowaazi

1 Awo Nawomi nnyazaala wa Luusi n’amugamba nti, "Lwaki sikunoonyeza maka ag’okubeeramu, bakulabiririre eyo? 4 Oluvannyuma ng’agalamiddeko wansi, weetegereze ekifo w’agalamidde, ogende obikkule ku bigere bye emirannamiro, naawe ogalamire awo; anaakubuulira eky’okukola."

9 N’amubuuza nti, "Ggwe ani?" Luusi n’addamu nti, "Nze Luusi omuweereza wo. Mbikkaako ku lugoye lwo kubanga oli mununuzi wa kika3:9 Omusajja okuddira olugoye lwe n’alubikka omukyala, kaali kabonero akalaga ng’omusajja oyo bwe yeetegese okuwasa omukyala oyo." 10 Bowaazi n’amuddamu nti, "Mukama Katonda akuwe omukisa muwala ggwe, olw’ekisa ekinene kyondaze okusinga eky’olubereberye, kubanga togenze wa bavubuka, abagagga oba abaavu. 11 Kaakano, muwala ggwe, totya. Nzija kukukolera buli kintu kyonna ky’onoosaba. Abantu bange bonna ab’omu kibuga, bamanyi ng’oli mukazi mwegendereza. 12 Kya mazima ddala ndi mununuzi wo, naye waliwo ansingako. 13 Beera wano okutuusa obudde lwe bunaakya. Kale bw’anaayagala okukutwala, kinaaba kirungi; naye bw’anaaba nga tasiimye, Mukama Katonda nga bw’ali omulamu, nnaakutwala."

15 Era n’amugamba aleete omunagiro gw’ayambadde; n’agukwata, n’amugerera ebigero mukaaga ebya sayiri, n’abimutikka, oluvannyuma Luusi n’addayo mu kibuga.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

Rute
Ver todos os capítulos de Rute