Bowaazi ne Luusi Bafumbiriganwa
1 Awo Bowaazi n’ayambuka ku wankaaki w’ekibuga n’atuula awo. Mu kiseera kye kimu, muganda we oli gwe yayogerako ngali ne Luusi, yali ayitawo. Bowaazi n’amuyita namugamba nti, "Jjangu otuuleko wano munnange." Naye n’akkiriza, n’agenda n’atuula we yali. 2 Bowaazi n’ayita n’abasajja kkumi ku bakadde b’ekibuga ne bajja ne batuula awo.
6 Amangwago, omusajja n’addamu nti, "Nze sisobola kukinunula kubanga nnyinza okwonoona obusika bwange. Noolwekyo gwe kinunule."
7 (Edda mu Isirayiri, empisa ey’okununula n’okuwaanyisa, yali nga bw’eti: omuntu omu yaggyangamu engatto4:7 Mu bitundu ebyo eby’ensi, okuba n’engatto kaali kabonero akalaga ng’omuntu bw’ali omugagga (Zab 60:8). ye, n’agiwa munne. Eno ye yali ng’enkola entuufu mu Isirayiri).
9 Bowaazi n’alangirira eri abakadde n’abantu bonna nti, "Olwa leero, nguze ku Nawomi ebintu byonna ebya Erimereki, n’ebya Kiriyoni n’ebya Maloni, era mmwe muli bajulirwa. 10 Era ne Luusi Omumowaabu, nnamwandu wa Maloni, naye mututte okuba mukazi wange, okusobola okukuuma erinnya ly’omugenzi Erimereki n’ebintu bye, erinnya lye lireme okufiira awo ate n’okugibwa ne ligibwa mu bitabo bye byafaayo eby’ekibuga. Mmwe bajulirwa!"
12 era n’ezzadde Mukama Katonda ly’anaakuwa mu mukazi oyo, libeere ng’ennyumba ya Pereezi4:12 Pereezi yali jjajja wa Bowaazi (Mat 1:3; Luk 3:33), Tamali gwe yazaalira Yuda."
13 Awo Bowaazi n’awasa Luusi okuba mukazi we, n’ayingira gy’ali, n’aba olubuto, Mukama Katonda n’amusobozesa okuzaala omwana owoobulenzi.
17 Abakyala ab’oku muliraano ne bagamba nti, "Ewa Nawomi ezaaliddwayo omwana." Ne bamutuuma erinnya Obedi, oyo ye kitaawe wa Yese, era jjajja wa Dawudi.