14 Abakyala ne bagamba Nawomi nti, "Mukama Katonda yeebazibwe, oyo atakulese nga tolina mununuzi olunaku lwa leero. Era erinnya ly’omwana lyatiikirire mu Isirayiri yonna! 15 Kubanga muka mwana wo akwagala, alizza obuggya obulamu bwo n’akuwanirira mu bukadde bwo; era akusingira abaana omusanvu, be yandizadde."
16 Awo Nawomi n’atwala omwana, n’amuwambaatira mu kifuba kye, n’amulabirira. 17 Abakyala ab’oku muliraano ne bagamba nti, "Ewa Nawomi ezaaliddwayo omwana." Ne bamutuuma erinnya Obedi, oyo ye kitaawe wa Yese, era jjajja wa Dawudi.