Publicidade

Tiago 2

Okukkiriza n’Ebikolwa Ebirungi

14 Abooluganda, kibagasa ki okugamba nti mulina okukkiriza kyokka ng’okukkiriza kwammwe temukwoleka mu bikolwa? Mulowooza ng’okukkiriza ng’okwo kugenda kubalokola? 15 Singa muganda wo oba mwannyoko takyalina kyakwambala wadde ekyokulya, 16 naye omu ku mmwe n’amugamba nti, "Genda mirembe, obugume, era olye bulungi", naye nga tamuwaddeeyo byetaago bya mubiri, olwo kimugasa ki? 17 Noolwekyo n’okukkiriza bwe kutyo; bwe kutabaako bikolwa kuba kufu.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-29_22-07-56-