Pular para o conteúdo
Publicidade

Yakobo 3:13-16

Amagezi Agava mu Ggulu

13 Ani alina amagezi n’okutegeera mu mmwe? Kale abiragirenga mu mpisa ze ennungi ng’akola ebikolwa eby’obwetoowaze eby’amagezi. 14 Bwe muba n’omutima omukyayi ogujjudde n’obuggya, era nga mwefaako mwekka, temusaanidde kwewaana na kulimba nga mukontana n’amazima. 15 Kubanga amagezi ng’ago tegava eri Katonda mu ggulu wabula ga ku nsi, era si ga mwoyo wazira ga Setaani. 16 Kubanga buli awabeera obuggya n’okwefaako wekka, wabeerawo okutabukatabuka era n’ebikolwa ebirala ebibi byonna.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.