3 Tuyinza okufuga embalaasi ne tugikozesa kye twagala olw’ebyuma bye tuba tutadde mu kamwa kaayo. 4 Era n’enkasi entono esobola okukyusa ekyombo ekinene ennyo n’ekiraza omugoba waakyo gy’ayagala, newaakubadde ng’empewo ekisindika ebeera ya maanyi mangi. 5 N’olulimi bwe lutyo, newaakubadde nga kantu katono, lwenyumiriza nnyo. Akaliro akatono kasobola okukoleeza ekibira ekinene ne kiggya. 6 Olulimi nalwo muliro. Lujjudde obutali butuukirivu bungi okusinga ebitundu ebirala eby’omubiri gwaffe. Lwo omuliro luguggya mu ggeyeena, ne lulyoka lukoleeza omubiri gw’omuntu gwonna ne gwaka ng’oluyiira okumutuusa mu kuzikirira.
7 Abantu, ebisolo ebya buli ngeri n’ennyonyi, n’ebyekulula, era n’eby’omu nnyanja basobola okubiyigiriza ne babifuga, 8 naye tewali muntu n’omu asobola kufuga lulimi. Terufugika era lubi nnyo, lujjudde obutwa obuttirawo.