Mweweeyo eri Katonda
1 Kiki ekireeta entalo n’okulwanagana mu mmwe? Si lwa kubanga mu mitima gyammwe mujjudde ebintu bingi nnyo ebibi bye mwagala? 2 Mwagala ebintu ne mutabifuna ne muba n’obuggya, ne mulyoka muttiŋŋana so ne mutasobola kubifuna, nga mulwana era nga muyomba kubanga mulemeddwa okubisaba.