Pular para o conteúdo
Publicidade

Yakobo 4

Okulabula ku Kwekulumbaza

13 Muwulire mmwe abagamba nti, "Leero oba enkya nzija kugenda egindi maleyo omwaka gumu, era ntandikeyo omulimu ogunanfunyisa ensimbi ennyingi." 14 Mumanyidde ku ki ebigenda okubaawo enkya oba obulamu bwammwe bwe bunaaba? Kubanga ebbanga lye mumala nga muli balamu liri ng’olufu olulabika ate mangwago ne lubula. 15 Kino kye musaanira okwogera nti, "Katonda bw’anaaba ng’asiimye tuliba balamu ne tukola kino oba kiri." 16 Bwe mutakola mutyo muba mwekuluntaza olw’entegeka zammwe, songa okwekuluntaza okw’engeri eyo tekusanyusa Katonda. 17 Okumanya ekituufu ekiteekwa okukolwa, naye ne mutakikola, kuba kwonoona.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

Veja também