Pular para o conteúdo
Publicidade

Yakobo 4:6-10

6 Kyokka Omwoyo omukulu oyo era agaba ekisa kingi. Kyekiva kigamba nti,

"Katonda alwana n’ab’amalala

naye abawombeefu abawa ekisa."

7 Kale, mugondere Katonda era mulwanyisenga Setaani, ajja kubaddukanga. 8 Musemberere Katonda, ne Katonda anaabasembereranga. Mulongoose engalo zammwe, mmwe abakozi b’ebibi, mutukuze emitima gyammwe, mmwe abalina emyoyo egitaaganaaga. 9 Mukungubage, mukube ebiwoobe era mukaabe. Okuseka kwammwe kufuuke okukungubaga, n’essanyu lifuuke okunakuwala. 10 Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.