4 Naye ekisa kya Katonda Omulokozi waffe n’okwagala kwe bwe byalabika, 5 n’atulokola, si lwa bikolwa eby’omu butuukirivu bye twakola, wabula olw’okusaasira kwe mu kunaazibwa okw’okuzaalibwa okw’omulundi ogwokubiri n’okufuulibwa abaggya olwa Mwoyo Mutukuvu, 6 gwe yatuyiwako mu bungi ku lwa Yesu Kristo Omulokozi waffe.