Pular para o conteúdo
Publicidade

Zekkaliya 6:1-8

Okwolesebwa kw’Amagaali Ana

1 Ne nyongera okuyimusa amaaso gange, era laba, amagaali g’embalaasi ana nga gava wakati w’ensozi bbiri, n’ensozi ezo zaali nsozi za bikomo. 2 Eggaali esooka ng’esikibwa embalaasi za lukunyu, eyookubiri nga nzirugavu. 3 Eggaali eyokusatu ng’esikibwa mbalaasi njeru, eyokuna yo ng’esikibwa za kikuusikuusi atabikiddwamu n’obwoya obweru. Embalaasi ezo zonna zaali z’amaanyi. 4 Ne ndyoka mbuuza malayika eyali ayogera nange nti, "Bino bitegeeza ki mukama wange?"

5 Malayika n’anziramu nti, "Ezo z’empewo ennya ez’omu ggulu; ziva kweyanjula mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna. 6 Ekigaali eky’embalaasi enzirugavu kigenda mu nsi ey’omu bukiikakkono, ate ekyo eky’enjeru mu bugwanjuba, ekyo ekyali kisikibwa embalaasi ez’obwoya obweru, kiraga mu nsi ey’omu bukiikaddyo."

7 Awo embalaasi ezo ez’amaanyi nga zivudde mu maaso ga Mukama, ne zifuba okutambulatambula mu nsi yonna; n’azigamba nti, "Mugende, mutambuletambule mu nsi yonna." Awo ne zitambulatambula mu nsi yonna. 8 Awo n’ampita n’aŋŋamba nti, "Laba, ezo eziraga mu nsi ey’obukiikakkono ziwummuzza Omwoyo wange mu nsi ey’omu bukiikakkono."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.