Publicidade

O adultério

Por Bíblia Online

O adultério é pecado grave que destrói alianças, famílias e vidas. A Bíblia condena firmemente a infidelidade conjugal e chama à pureza, fidelidade e santidade no casamento.

A lei de Deus

Não adulterarás. Quem comete adultério destrói a própria alma. A Palavra de Deus é clara e direta sobre este pecado.

Toyendanga.

" Omusajja bwanaayendanga ku muka omusajja, bombi, omusajja ayenze n’omukazi gw’ayenzeeko banattibwanga.

" Teweebakanga na mukyala wa munnansi yammwe okumukolako ebyensonyi, n’akuleetera obutali bulongoofu.

Naye buli ayenda ku mukazi talina magezi;

kubanga azikiririza ddala emmeeme ye ye.

Naye buli ayenda ku mukazi talina magezi;

kubanga azikiririza ddala emmeeme ye ye.

Alifuna ebiwundu n’okunyoomebwa;

n’obuswavu tebulimusangulibwako.

Kubanga obuggya buleetera omusajja okuswakira,

era taliba na kisa n’akatono nga yeesasuza.

Talikkiriza mutango gwonna,

wadde okuwooyawooyezebwa enguzi ennene.

Omuntu ayinza okuwambaatira omuliro mu kifuba kye,

ebyambalo bye ne bitaggya?

Oba omuntu ayinza okutambulira ku manda agookya,

ebigere bye ne bitasiriira?

Bwe kityo bwe kiri eri omusajja agenda ne muka muliraanwa we,

buli akwata ku mukazi ng’oyo talirema kubonerezebwa olw’ekibi kye.

Jesus ensina

Quem olhar para uma mulher com intenção impura já adulterou no coração. Jesus elevou o padrão da pureza.

Etteeka ly’Obwenzi

"Mwawulira bwe kyagambibwa nti, Toyendanga! Naye mbagamba nti Buli muntu atunuulira omukazi n’amwegomba aba amaze okumwendako mu mutima gwe.

Naye mbagamba nti Buli anaagobanga mukazi we wabula olw’obwenzi anaabanga amwenzesezza, n’oyo anaawasanga omukazi gwe bagobye anaabanga ayenze."

Kubanga mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obussi, n’obwenzi, eby’obukaba, n’obubbi, n’okuwaayiriza, n’okuvvoola.

Yesu n’abagamba nti, "Omusajja bw’agobanga mukazi we n’awasa omukazi omulala, aba ayenze. N’omukazi bw’ayawukananga ne bba n’afumbirwa omusajja omulala naye aba ayenze."

"Omusajja yenna agoba mukazi we n’awasa omulala aba ayenze; n’oyo awasa omukazi agobeddwa, naye aba ayenze."

Ne bagamba Yesu nti, "Omuyigiriza, omukazi ono akwatibbwa ng’ayenda. Amateeka Musa ge yatulagira gagamba kubakuba mayinja abali ng’ono. Noolwekyo ggwe ogamba otya ku nsonga eyo?" Ekyo baakyogera nga bamugezesa, bafune kye banaasinziirako okumuwawaabira.

Naye Yesu n’akutama n’awandiika ku ttaka n’olunwe. Bwe beeyongera okumubuuza, n’akutaamulukuka, n’agamba nti, "Mu mmwe atayonoonangako y’aba asooka okumukuba ejjinja." N’addamu okukutama, era n’awandiika ku ttaka n’olunwe. Bwe baawulira ebyo, ne baseebulukuka kinnoomu, abasinga obukulu nga be basoose, okutuusa Yesu n’omukazi bwe baasigalawo bokka mu maaso g’ekibiina. Awo Yesu n’akutaamulukuka ate, n’abuuza omukazi nti, "Abakuwawaabira baluwa?"

Omukazi n’amuddamu nti, "Mukama wange, tewali n’omu."

Yesu n’amugamba nti, "Nange sikusalira musango kukusinga. Genda, naye toddangayo okwonoona."

Armadilhas e consequências

Os lábios da mulher estranha destilam mel, mas o seu fim é amargo. Fuja da imoralidade — o adultério escraviza.

Kubanga emimwa gy’omukazi omwenzi gitonnya omubisi gw’enjuki,

n’ebigambo bye biweweevu okusinga omuzigo;

naye enkomerero ya byonna, akaawa ng’omususa

era asala ng’ekitala eky’obwogi obubiri.

Ebigere bye bituuka mu kufa,

ebisinde bye biraga emagombe.

Tafaayo ku kkubo lya bulamu,

amakubo ge gaakyamakyama dda, naye nga takimanyi.

Kubanga emimwa gy’omukazi omwenzi gitonnya omubisi gw’enjuki,

n’ebigambo bye biweweevu okusinga omuzigo;

naye enkomerero ya byonna, akaawa ng’omususa

era asala ng’ekitala eky’obwogi obubiri.

Ebigere bye bituuka mu kufa,

ebisinde bye biraga emagombe.

Tafaayo ku kkubo lya bulamu,

amakubo ge gaakyamakyama dda, naye nga takimanyi.

Kaakano, batabani bange mumpulirize,

temuvanga ku bigambo bya kamwa kange.

Mwewalenga omukazi oyo

era temusembereranga luggi lwa nnyumba ye;

si kulwa nga mufiirwa ekitiibwa kyammwe,

n’okumalira ebiseera byammwe ku oyo alina ettima,

Mwewalenga omukazi oyo

era temusembereranga luggi lwa nnyumba ye;

si kulwa nga mufiirwa ekitiibwa kyammwe,

n’okumalira ebiseera byammwe ku oyo alina ettima,

ate si kulwa nga b’otolina ky’obamanyiiko bakwavuwaza,

n’amaanyi go n’ogamalira ku maka g’omulala.

Ku nkomerero y’obulamu bwo olisinda,

ennyama yo n’omubiri gwo nga biweddewo.

Oligamba nti, "Nga nakyawa okulabulwa,

n’omutima gwange ne gukyawa okunenyezebwa,

era ne sigondera ddoboozi ly’abasomesa bange,

wadde okussaayo omwoyo eri abo abampanga amagezi.

Ntuuse ku njegoyego z’okuzikirira

nga ndi wakati mu kuŋŋaaniro ly’ekibiina."

Ng’ennangaazi eyeeyagaza n’empeewo esanyusa,

leka okusuuta kwe kukumalenga ennaku zonna era naye akwetoloozenga okwagala kwe.

Lwaki mwana wange osendebwasendebwa omukazi omwenzi,

n’ogwa mu kifuba ky’omukazi w’omusajja omulala?

Kubanga ennyumba ye ekka mu kufa,

n’amakubo ge galaga eri abafu.

Tewali n’omu agenda ewuwe adda

wadde okufunirayo amakubo g’obulamu.

Malaaya mutego gwa kabi,

akolimiddwa Mukama mw’afiira.

Mudduke obwenzi. Buli kibi omuntu ky’akola kiba ku mubiri, naye ayenda akola ekibi ku mubiri gwe ye yennyini.

Mbagamba nti, mutambulirenga mu Mwoyo, mu ngeri yonna, mulemenga kutuukiriza kwegomba kwa mubiri. Kubanga okwegomba kw’omubiri kulwanagana n’Omwoyo, n’Omwoyo n’alwanagana n’omubiri; kubanga bino byombi bikontana, mulemenga okukola bye mwagala.

Ebikolwa by’omubiri bya lwatu, bye bino: obwenzi, obukaba, obugwenyufu, Okusinza bakatonda abalala, obufumu, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, okwekuluntaza, okweyawula, okwesalamu, ettima, obutamiivu, ebinyumu, n’ebirala ebiri ng’ebyo. Ka mbategeeze nate nga bwe nasooka okubabuulira nti buli akola ebyo talina mugabo mu bwakabaka bwa Katonda.

Obufumbo mubussangamu ekitiibwa n’ebirayiro byabwo, kubanga abakaba n’abenzi Katonda alibasalira omusango, ne gubasinga.

Kubanga Katonda ayagala mutukuzibwe, era mwewalenga obwenzi, buli omu ku mmwe amanyenga okufuga omubiri gwe mu butukuvu n’ekitiibwa, so si mu kwegomba okw’obukaba ng’abamawanga abatamanyi Katonda bwe bakola.

Mmwe abenzi temumanyi ng’okuba mikwano gy’ensi bulabe eri Katonda? Noolwekyo omuntu yenna bw’alondawo okuba mukwano gw’ensi afuuka mulabe wa Katonda.

Namuwa ekiseera yeenenye, kyokka tayagala kwenenya bwenzi bwe. Laba, ndimulwaza obulwadde obulimusuula ku ndiri, era n’abo baayenda nabo mbatuuse ku bulumi obw’amaanyi, okuggyako nga beenenyezza ebikolwa byabwe.

Seja o primeiro
Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-29_22-07-56-