Pular para o conteúdo
Publicidade

Consequências dos nossos atos

Por Bíblia Online

Toda ação tem consequências. A Bíblia ensina que colhemos o que semeamos — para o bem e para o mal. Deus pesará cada palavra e ato no dia do juízo.

Colher o que semear

Cada um prestará contas de si mesmo a Deus. O Senhor julgará as obras e os segredos dos homens com justiça perfeita.

Noolwekyo buli omu ku ffe alyennyonnyolako eri Katonda.

Katonda aliwa buli omu empeera esaanira ebikolwa bye. Aliwa obulamu obutaggwaawo abo abaakola obulungi, nga balina essuubi ery’okuweebwa ekitiibwa, ettendo n’obulamu obw’emirembe n’emirembe. Naye abo abeenoonyeza ebyabwe, abajeemera amazima nga bagondera obutali butuukirivu, kiriba kiruyi na busungu. Walibaawo ennaku n’okubonaabona ku buli mmeeme y’omuntu akola ebibi, okusookera ku Muyudaaya n’oluvannyuma ku Munnaggwanga. Naye ekitiibwa n’ettendo n’emirembe biriba ku buli akola ebituufu, okusookera ku Muyudaaya n’oluvannyuma ku Munnaggwanga. Kubanga Katonda tasosola mu bantu.

Waliwo enjawulo nnene wakati w’ekibi kya Adamu n’ekirabo kya Katonda. Ekibi ekimu kyatuweesa ekibonerezo. Kyokka ekirabo kya Katonda kyatukkirizisa gy’ali, newaakubadde nga twonoona emirundi mingi. Obanga olw’okwonoona kw’omuntu omu okufa kwabuna, abaliweebwa ekisa kya Katonda n’ekirabo eky’obutuukirivu, tebalisinga nnyo okufugira mu bulamu olw’omuntu omu Yesu Kristo?

Temunoonyanga Bisobyo ku Bannammwe

"Temusalanga musango, nammwe muleme okusalirwa omusango. Kubanga nga bwe musalira abalala nammwe bwe mujjanga okusalirwa. Ekigera kye mugereramu, nammwe kye muligererwamu."

Era mbategeeza nti buli kigambo kyonna ekitasaana abantu kye boogera, kiribabuuzibwa ku lunaku olw’okusalirako emisango.

Ekigambo kya Katonda kiramu era kikola. Kisala okusinga ekitala eky’obwogi obubiri, era kiyitamu ne kituukira ddala ku mmeeme n’omwoyo, n’ennyingo n’obusomyo, era kyawula ebirowoozo n’okufumiitiriza kw’omutima. Katonda amanyi ebintu byonna, so tewali kitonde na kimu ekikwekeddwa amaaso ge. Alaba buli kintu, era tulyogera mazima nga tumutegeeza buli kimu.

Responsabilidade pessoal

Quem é sábio prevê o perigo e se esconde. A Palavra examina os pensamentos e intenções do coração.

Omuntu omutegeevu bw’alaba akabi yeekweka,

naye abatalina magezi bagenda bugenzi mu maaso ne balumizibwa.

Bw’obeera omugezi, amagezi go gakuyamba,

naye bw’onyooma amagezi weerumya wekka."

Kyambika eri omuntu okwanguyiriza okweyama eri Mukama,

naye oluvannyuma n’afumiitiriza ku bye yeeyamye.

Ebikolwa Ebyetaagisa Ebiweebwayo olw’Ekibi

" Omuntu bw’ategyengayo ku kintu ky’amanyi, n’awa obujulirwa ku kintu kye yalaba oba kye yawulira nga kikyamu, anaabanga azzizza omusango.

"Omuntu yenna bw’anaayonoonanga n’akola ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, ne bw’anaabanga takitegedde, anazzanga omusango.

Etteeka ku Kwagala

"Muganda wo tomukyawanga mu mutima gwo. Naye munno ng’asobezza, omunenyanga, si kulwa nga naawe ogwa mu kibi nga ye.

Consequências inevitáveis

A terra deu seu fruto conforme as obras dos que nela habitam. Ninguém escapa do juízo — Deus pesa cada ação.

Ensi erifuuka matongo,

olw’ebikolwa by’abantu abagibeeramu.

Mulisasulibwa olw’obukaba bwammwe, era mulibonerezebwa olw’ebibi byammwe eby’okusinza bakatonda abalala, mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda."

Era ndivunaana ayiwa omusaayi gwammwe ne nvunaana n’omuntu olw’omusaayi gw’ensolo ne muvunaana n’olwomusaayi gwa muntu munne.

Omuntu omubi ayinza atya okukunyooma, Ayi Katonda,

n’agamba mu mutima gwe nti

"Sigenda kwennyonnyolako?"

Naye ggwe, Ayi Katonda, ennaku zaabwe n’okubonaabona kwabwe obiraba

era ojja kubikolako.

Ateesobola yeewaayo mu mikono gyo,

kubanga gwe mubeezi w’abatalina bakitaabwe.

Seja o primeiro