Colheita
A colheita é princípio bíblico universal: colhemos o que semeamos. Quem semeia na fé e obediência colherá bênçãos abundantes do Senhor.
Semear e colher
Quem semeia no Espírito, do Espírito colherá vida eterna. Não nos cansemos de fazer o bem — ao tempo certo colheremos.
Kubanga oyo asiga eri omubiri gwe, alikungula ebiggwaawo. Naye oyo asiga eri omwoyo, alikungula obulamu obutaggwaawo.
Temubuzibwabuzibwanga, Katonda tasekererwa, kubanga omuntu ky’asiga era ky’alikungula.
Kale tulemenga okuterebuka mu kukola obulungi, kubanga oluvannyuma tulikungula emikisa, bwe tutaggwaamu maanyi.
Kubanga oyo awa omulimi ensigo okusiga, ate n’amuwa n’emmere ey’okulya, anaayazanga ensigo yammwe era n’agyongerako, era anaayongeranga ebibala eby’obutuukirivu.
Era ekibala eky’obutuukirivu kiva mu abo abakolerera emirembe.
Okukangavvulwa kwonna mu biro ebya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu, kuba kwa bulumi, naye oluvannyuma kuleeta ebibala eby’emirembe eri abo abayigirizibwa, era ekivaamu bwe butuukirivu.
Fidelidade na semeadura
Honra ao Senhor com as tuas primícias. O Senhor abrirá as janelas do céu e derramará bênção sem medida.
Mukama mugulumizenga n’eby’obugagga byo; n’ebibala ebisooka eby’ebintu byo byonna eby’omu nnimiro yo,
Muleete ekimu eky’ekkumi ekijjuvu mu nnyumba yange, ennyumba yange ebeeremu emmere, era mungezese," bw’ayogera Mukama ow’Eggye, "obanga siribaggulirawo ebituli eby’omu ggulu, ne mbawa omukisa ne gutabaako ne we guligya.
"Bwe munaakwatanga amateeka gange, ne mugondera ebiragiro byange n’obwegendereza, nnaabatonnyesezanga enkuba mu ntuuko zaayo, n’ettaka linaavangamu ebibala byalyo, n’emiti egy’omu nnimiro ginaabalanga ebibala byagyo.
Mulabire ku nnyonyi ez’omu bbanga! Tezisiga so tezikungula so tezikuŋŋaanyiza mmere mu tterekero, naye Kitammwe ali mu ggulu aziriisa. Naye mmwe temusinga nnyo ennyonyi ezo?
Omuzabbibu gukaze
n’omutiini guyongobedde.
Omukomamawanga, n’olukindu ne apo
n’emiti gyonna egy’omu nnimiro giwotose.
Abantu tebakyalina ssanyu.
Wadde omutiini tegutojjera,
so n’emizabbibu nga tegiriiko bibala,
amakungula g’emizeeyituuni ne gabula,
ennimiro ne zitabala mmere n’akamu,
endiga nga ziweddemu mu kisibo,
nga n’ente tezikyalimu mu biraalo,
kyokka ndijaguliza Mukama,
ne nsanyukira mu Katonda Omulokozi wange.