Agradecimento a Deus
Agradecer a Deus é louvor, adoração e reconhecimento da sua soberania. Dai graças ao Senhor porque Ele é bom — a sua misericórdia dura para sempre!
Tujje mu maaso ge n’okwebaza;
tumuyimbire ennyimba ez’okumutendereza.
Muyingire mu miryango gye nga mwebaza,
ne mu mpya ze n’okutendereza;
mumwebaze mutendereze erinnya lye.
Mumutendereze Mukama!
Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
kubanga okwagala kwe tekuggwaawo emirembe gyonna.
Ggwe Katonda wange, nnaakwebazanga;
ggwe Katonda wange, nange nnaakugulumizanga.
Muyimbire Mukama ennyimba ez’okumwebaza;
mumukubire entongooli ezivuga obulungi.
Nnaatenderezanga erinnya lya Katonda nga nnyimba;
nnaamugulumizanga n’okwebaza.
Mukama ge maanyi gange,
era ye ngabo yange, ye gwe neesiga.
Bwe ntyo ne nyambibwa.
Omutima gwange gunaajaguzanga, ne mmuyimbira ennyimba ez’okumwebazanga.
Kale nno, Katonda waffe, tukwebaza
era tutendereza erinnya lyo ery’ekitiibwa.
Temweraliikiriranga kintu na kimu, wabula mu buli kintu mu kusabanga ne mu kwegayiriranga awamu n’okwebazanga, mutegeezenga Katonda bye mwetaaga.
Nneebaza Katonda wange buli lwe mbajjukira,
Na buli kye munaakolanga mu kigambo oba mu kikolwa, byonna mubikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu nga muyita mu ye okwebaza Katonda Kitaffe.
Bulijjo twebaza Katonda ku lwammwe mwenna era tubasabira obutayosa, nga tujjukira omulimu gwammwe ogw’okukkiriza, n’okufuba okw’okwagala n’okugumiikiriza okw’essuubi mu Mukama waffe Yesu Kristo mu maaso ga Katonda era Kitaffe,
Nneebaza Katonda wange bulijjo ku lwammwe, olw’ekisa kya Katonda ekyabaweebwa mu Kristo Yesu,
Kyokka Katonda yeebazibwe atuwanguza ffe ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo.
Katonda yeebazibwe atuwanguzisa bulijjo mu Kristo Yesu, n’akawoowo ak’okumanya, ke tubunyisa wonna.
Kubanga oyo awa omulimi ensigo okusiga, ate n’amuwa n’emmere ey’okulya, anaayazanga ensigo yammwe era n’agyongerako, era anaayongeranga ebibala eby’obutuukirivu. Anaabagaggawazanga mu buli kintu, ekyebazisa Katonda mu ffe.
Bwe mukuŋŋananga muzimbaganenga mu Zabbuli ne mu nnyimba, ne mu nnyimba ez’Omwoyo nga muyimbira Mukama era nga mumuyimusiza amaloboozi mu mutima gwammwe. Bulijjo mwebazenga Katonda Kitaffe olwa byonna, mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.
Mutyenga Kristo, nga muwuliragananga.
Yesu n’atoola emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri n’ayimusa amaaso ge eri eggulu ne yeebaza Katonda. N’amenyaamenya emigaati n’ebyennyanja ebibiri, n’abiwa abayigirizwa be ne bagabula abantu bonna ne babuna. Bonna ne balya ne bakkuta. Ne bakuŋŋaanya obukunkumuka bw’emigaati n’obw’ebyennyanja ebisero kkumi na bibiri.