Ajuda
Deus é nosso auxílio e socorro em todo tempo. Ele não dorme nem cochila. O Senhor é nosso ajudador — não precisamos temer o que o homem possa nos fazer.
Okubeerwa kwange kuva eri Mukama,
eyakola eggulu n’ensi.
Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe;
omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.
Laba, Katonda ye mubeezi wange,
Mukama ye mukuumi wange.
Obulokozi bw’abatuukirivu buva eri Mukama;
ye ky’ekigo kyabwe ekinywevu gye baddukira mu kiseera eky’emitawaana.
Mukama abayamba n’abalokola;
abaggya mu mikono gy’ababi n’abalokola,
kubanga gy’ali gye baddukira.
Ayi Mukama Omulokozi wange,
yanguwa okumbeera.
Tuyambe olw’ekitiibwa ky’erinnya lyo,
Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;
otuwonye era otutangiririre olw’ebibi byaffe
olw’erinnya lyo.
Atenderezebwe Mukama,
kubanga awulidde eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
Mukama ge maanyi gange,
era ye ngabo yange, ye gwe neesiga.
Bwe ntyo ne nyambibwa.
Omutima gwange gunaajaguzanga, ne mmuyimbira ennyimba ez’okumwebazanga.
Singa Mukama teyali mubeezi wange,
omwoyo gwange gwandiserengese emagombe.
Kubanga nze Mukama Katonda wo
akukwata ku mukono ogwa ddyo,
nze nkugamba nti,
Totya nze nzija kukuyamba.
Ompadde engabo ey’obulokozi bwo,
ne weefeebya ne wessa wansi olyoke onfuule ow’ekitiibwa.
"Mujje gye ndi mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza.
nange ndisaba Kitange n’abawa Omubeezi omulala anaabeeranga nammwe emirembe n’emirembe,
N’Omwoyo bw’atyo atubeera mu bunafu bwaffe. Tetumanyi kusaba nga bwe kitugwanira, naye Omwoyo yennyini atwegayiririra n’okusinda okutayogerekeka. Oyo akebera emitima, amanyi Omwoyo ky’alowooza, kubanga yeegayiririra abatukuvu ng’okusiima kwa Katonda bwe kuli.
Weesige Mukama n’omutima gwo gwonna,
so teweesigamanga ku magezi go gokka.
Mukama mukulembezenga mu by’okola byonna,
naye anaakuluŋŋamyanga n’owangula.
Mumutwalirenga byonna bye mweraliikirira kubanga abalumirwa era afaayo ku buli ekibatuukako.