Alma
A alma é a parte mais íntima do ser humano — sede da vida, dos afetos e do encontro com Deus. A Bíblia convida a cuidar da alma com zelo e a aquietá-la diante do Senhor.
A alma diante de Deus
Bendize ao Senhor, ó minha alma! A alma suspira por Deus como a corça suspira pelas águas — com sede de eternidade.
Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange;
ne byonna ebiri mu nze byebaze erinnya lye ettukuvu.
Ayi Katonda, oli Katonda wange,
nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
emmeeme yange ekwetaaga,
omubiri gwange gwonna gukuyaayaanira,
nga nnina ennyonta ng’ali
mu nsi enkalu omutali mazzi.
Lwaki wennyise Ayi ggwe emmeeme yange?
Lwaki otabusetabuse mu nda yange?
Weesigenga Katonda,
kubanga nnaamutenderezanga,
Omulokozi wange era ye Katonda wange.
Emmeeme yange ewummulira mu Katonda yekka;
oyo obulokozi bwange mwe buva.
Nnindirira Mukama, emmeeme yange erindirira
era essuubi lyange liri mu kigambo kye.
Nnaayimusanga eddoboozi lyange olw’essanyu
nga nkutendereza,
nze gw’onunudde!
Ekiragiro kya Mukama kirimu byonna,
era kizzaamu amaanyi mu mwoyo.
Etteeka lya Mukama lyesigika,
ligeziwaza abatalina magezi.
Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze;
ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange.
Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo;
emirimu gyo gya kyewuunyo;
era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.
Omponye, Ayi Mukama,
emimwa egy’obulimba,
n’olulimi olw’obukuusa.
Cuidar da alma
Que aproveita ao homem ganhar o mundo inteiro e perder a sua alma? Buscar a Deus de toda alma é o caminho da vida.
Kigasa ki omuntu okufuna ensi yonna naye n’afiirwa obulamu bwe? Oba kiki omuntu kyayinza okuwaayo olw’obulamu bwe?
Yesu n’addamu nti, " ‘Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.’
Era temubatyanga abo abatta omubiri kubanga tebasobola kutta mwoyo! Naye mutyenga oyo yekka, ayinza okuzikiriza byombi omwoyo n’omubiri mu ggeyeena.
Naye ng’oli eyo, bw’onoonoonyanga Mukama Katonda wo, onoomulabanga, singa onoomunoonyanga n’omutima gwo gwonna awamu n’omwoyo gwo gwonna.
Wabula mwegendereze okukuumanga ebiragiro era n’amateeka Musa omuweereza wa Mukama bye yabalagira: okwagalanga Mukama Katonda wammwe, okutambuliranga mu makubo ge gonna, okukuumanga ebiragiro bye, n’okumunywererangako era n’okumuweerezanga n’omutima gwammwe gwonna era n’emmeeme yammwe yonna."
"Era kaakano nnaatera okukwata olugendo lw’abantu bonna ab’oku nsi era mumanyi n’emitima gyammwe n’emmeeme yammwe mmwe mwenna nti, Tewali kintu kyonna kitatuukiridde Mukama Katonda wammwe kye yasuubiza ekibakwatako. Byonna bibakoleddwa, tewali na kimu kiremye.
"Mulinnoonya ne mundaba bwe mulinnoonya n’omutima gwammwe gwonna.
Kino Mukama ky’agamba nti,
"Yimirira mu masaŋŋanzira otunule.
Buuza amakubo ag’edda, buuza ekkubo eddungi gye liri,
era otambulire omwo,
emmeeme yammwe erifuna ekiwummulo.
Naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kulitambuliramu.’
Ebigambo ebirungi biri ng’ebisenge by’omubisi gw’enjuki,
biwoomera emmeeme, ne biwonya n’amagumba.
Munnange omwagalwa, nkusabira okole bulungi ebintu byonna era obeere mulamu mu mubiri, nga bw’oli mu mwoyo.