Publicidade

Amor de casal

Por Bíblia Online

O amor de casal é celebrado na Bíblia como dom sagrado. O Cântico dos Cânticos exalta a beleza do amor conjugal — íntimo, exclusivo e forte como a morte.

Nteeka ng’akabonero ku mutima gwo,

era ng’akabonero ku mukono gwo,

kubanga okwagala kwa maanyi ng’okufa,

obuggya bwakwo buli ng’obusungu obw’emagombe.

Kwaka ng’ennimi ez’omuliro,

omuliro ogwaka n’amaanyi ennyo.

Amazzi amangi tegamalaawo nnyonta ya kwagala

n’emigga tegiyinza kukumalawo.

Singa omuntu awaayo

obugagga bwe bwonna obw’ennyumba ye okufuna okwagala,

asekererwa nnyo.

Abemikwano

Osenzesenze omutima gwange,

mwannyinaze, omugole wange;

otutte omutima gwange, ne munye y’eriiso lyo gy’onkubye,

n’omukuufu ogumu ogw’omu bulago bwo.

Leka annywegere n’emimwa gye

kubanga okwagala kwo kusinga envinnyo,

n’amafuta go gawunya akaloosa akalungi;

erinnya lyo liri ng’amafuta agattululwa,

era abawala kyebava bakwagala.

Laba, oli mubalagavu, omwagalwa wange

oli mubalagavu olabika bulungi.

Amaaso go mayiba.

Omwagalwa

Olabika bulungi muganzi wange,

era onsanyusa.

Ekitanda kyaffe kya muddo muto.

Owoomukwano

Mukama Katonda n’ayogera nti, "Si kirungi omuntu okuba yekka, nnaamukolera omubeezi amusaanira."

Mukama Katonda n’atonda omukazi okuva mu lubiriizi lwe yaggya mu musajja n’amumuleetera.

Omusajja n’agamba nti,

"Lino lye ggumba ery’omu magumba gange,

ye nnyama ey’omu nnyama yange,

anaayitibwanga mukazi;

kubanga aggyibbwa mu musajja."

Noolwekyo omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omubiri gumu.

Azuula omukazi omulungi ow’okuwasa aba azudde ekirungi,

era aganja eri Mukama.

Kale leka ensulo yo ebeere n’omukisa,

era osanyuke ne mukazi wo ow’omu buvubuka bwo.

Ng’ennangaazi eyeeyagaza n’empeewo esanyusa,

leka okusuuta kwe kukumalenga ennaku zonna era naye akwetoloozenga okwagala kwe.

Lwaki mwana wange osendebwasendebwa omukazi omwenzi,

n’ogwa mu kifuba ky’omukazi w’omusajja omulala?

nga tebakyali babiri naye omuntu omu.Noolwekyo Katonda be yagatta awamu, omuntu tabaawukanyanga."

Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. Okwagala tekulina buggya era tekwenyumiikiriza wadde okwekuluntaza. Okwagala tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga mangu, era tekusiba kibi ku mwoyo. Okwagala tekusanyukira bitali bya butuukirivu, wabula kusanyukira mazima. Okwagala kugumira byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna era kugumiikiriza byonna.

N’abasajja bwe batyo bwe basaana okwagalanga bakazi baabwe, nga bwe baagala emibiri gyabwe gyennyini. Ayagala mukazi we yeeyagala yekka. Tewali n’omu yali akyaye omubiri gwe, wabula aguliisa era agujjanjaba nga Kristo bw’ajjanjaba Ekkanisa ye,

Kale, nammwe buli musajja ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yennyini, era n’omukazi assengamu bba ekitiibwa.

Okwagala kwe kusinga ebintu ebirala byonna, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna.

Ababiri basinga omu,

kubanga bagasibwa nnyo mu kukola kwabwe.

Kubanga singa omu agwa,

munne amuyimusa.

Naye zimusanze oyo ali obw’omu,

bw’agwa tabaako amuyimusa.

Ababiri bwe bagalamira bombi awamu babuguma;

naye oyo ali obw’omu, ayinza atya okubuguma?

Omu awangulwa mangu,

kyokka ababiri bayinza okwerwanako.

Kubanga omuguwa ogw’emiyondo esatu tegukutuka mangu.

Katonda teyabafuula omu mu mwoyo? Era lwaki yabafuula omu? Kubanga yali anoonya ezzadde eriritya Katonda. Kale mwekuume nnyo waleme kubaawo agoba mukazi we, era alimbalimba mukazi we ow’omu buvubuka bwe.

Amateeka Agatali Gamu

Omusajja bw’anaabanga yaakawasa taalondebwenga kugenda kutabaala oba okuweebwa omulimu omulala omunene ng’ogwo. Anaasigalanga mu maka ge okumala ebbanga lya mwaka mulamba ng’asanyusa mukazi we gw’anaabanga awasizza.

Seja o primeiro
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-07-05_19-25-13-