Publicidade

Amor fraternal

Por Bíblia Online

O amor fraternal é marca dos discípulos de Cristo. Nisto conhecerão que sois meus discípulos: se tiverdes amor uns aos outros.

Amar uns aos outros

Este é o meu mandamento: que vos ameis uns aos outros como Eu vos amei. O amor fraternal é testemunho ao mundo.

"Mbawa ekiragiro ekiggya: Mwagalanenga nga nze bwe mbaagala. Bwe munaayagalananga abantu bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange."

Kye mbalagira kye kino nti mwagalanenga nga Nze bwe mbaagala.

Tewali kwagala kusinga okw’omuntu awaayo obulamu bwe olwa mikwano gye.

Mwagalanenga

Kubanga buno bwe bubaka bwe twawulira okuva ku lubereberye nti twagalanenga,

Kubanga ffe tumanyi nga twava mu kufa, ne tuyingira mu bulamu, kubanga twagala abooluganda, naye buli muntu atalina kwagala akyali mu kufa.

Mu kino mwe tutegeerera okwagala, kubanga yawaayo obulamu bwe ku lwaffe, era naffe kyetuva tuteekwa okuwaayo obulamu bwaffe olw’abooluganda. Buli alina ebintu eby’omu nsi n’alaba muganda we nga yeetaaga, naye n’abulwako ky’amuwa, okwagala kwa Katonda, kuyinza kutya okuba mu ye? Abaana abaagalwa, tetusaana kwagala mu bigambo kyokka, wabula twagalanenga ne mu bikolwa ne mu bulamu obulabika eri abantu.

Abaagalwa, twagalanenga, kubanga okwagala kuva eri Katonda, era buli alina okwagala mwana wa Katonda, era amanyi Katonda.

Mu kino mwe tutegeerera ddala okwagala kwennyini, kubanga teyakikola lwa kuba nti ffe twali twagala Katonda, naye ye yennyini ye yatwagala, n’awaayo Omwana we ng’omutango olw’ebibi byaffe. Kale abaagalwa, nga Katonda bwe yatwagala bw’atyo naffe tuteekwa okwagalananga. Tewali n’omu eyali alabye ku Katonda, naye bwe twagalana, Katonda abeera mu ffe, n’okwagala kwe ne kulabikira mu ffe.

Omuntu yenna bw’agamba nti, "Njagala Katonda," naye n’akyawa muganda we, omuntu oyo mulimba. Kubanga buli atayagala muganda we gw’alabako, tasobola kwagala Katonda gw’atalabangako. Era Katonda yennyini yatulagira nti, "Buli ayagala Katonda ayagalenga ne muganda we."

Expressões de amor fraternal

Amai-vos com afeição fraternal. O amor cobre multidão de pecados. Perseverai no amor fraterno.

nga mwagalana mu kwagala okw’abooluganda, nga muwaŋŋana ekitiibwa,

Temubeeranga na bbanja lyonna eri omuntu yenna, wabula okwagalananga; kubanga ayagala muntu munne ng’atuukiriza amateeka.

Okubonyaabonyezebwa olw’Okukola Ebituufu

Eky’enkomerero, mwenna mubenga n’emmeeme emu, buli omu alumirirwenga munne, era mwagalanenga ng’abooluganda ddala, mubenga ba kisa era beetoowaze.

N’ekisingira ddala obukulu mwagalanenga ddala mu mazima, kubanga okwagalana kubikka ebibi bingi.

Kaakano ku bikwata ku kwagalana kw’abooluganda sseetaaga kubibawandiikirako, kubanga mmwe mwennyini mwayigirizibwa Katonda okwagalananga.

Mweyongere okwagalananga ng’abooluganda. Temwerabiranga kusembeza bagenyi, kubanga waliwo abaasembeza bamalayika nga tebagenderedde. Mujjukirenga abasibe abali mu kkomera, nga muli nga abaasibirwa awamu n’abo. Munakuwaliranga wamu nabo ababonyaabonyezebwa, kubanga nammwe muli mu mubiri.

Okwagala kwe kusinga ebintu ebirala byonna, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna.

Yesu n’addamu nti, " Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna. Eryo ly’etteeka ery’olubereberye era lye Iisingira ddala obukulu. N’eryokubiri eririfaananako lye lino nti, Yagalanga muliraanwa wo nga gwe bwe weeyagala wekka.

Kiba kirungi nnyo era kya kitiibwa bwe mugondera etteeka eriri mu Kyawandiikibwa erigamba nti, "Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka."

Seja o primeiro
Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-28_14-13-17-