Ascensão
A ascensão de Jesus ao céu é a coroação de sua obra redentora. Ele subiu à destra do Pai, de onde voltará com poder e glória para buscar os seus.
Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, ekire ne kimutwala waggulu nga balaba.
Awo bwe baali nga batunula enkaliriza mu ggulu ng’agenda, amangwago abasajja babiri nga bambadde engoye enjeru ne balabika, ne boogera nti, "Abasajja Abagaliraaya, lwaki muyimiridde wano nga mutunula waggulu mu ggulu? Yesu oyo abaggiddwako n’atwalibwa mu ggulu, agenda kukomawo mu ngeri y’emu nga bwe mumulabye ng’agenda mu ggulu."
Awo Mukama waffe Yesu bwe yamala okwogera nabo, n’atwalibwa mu ggulu n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.
Awo Yesu n’abakulembera ne balaga e Besaniya. N’ayimusa emikono gye waggulu, n’abawa omukisa. Bwe yali ng’akyabawa omukisa, n’abavaako, n’asitulibwa, n’atwalibwa mu ggulu.
Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebisenge bingi, era ŋŋenda okubateekerateekera ekifo. Singa tekiri bwe kityo nandibagambye.
"Ddala ddala mbagamba nti buli anzikiriza alikola emirimu egyo gye nkola, era alikola egisinga egyo, kubanga Nze ŋŋenda eri Kitange.
Nava eri Kitange ne nzija mu nsi era nzija kuva mu nsi nzireyo eri Kitange."
Yesu n’amugamba nti, "Tonkwatako kubanga sinnagenda eri Kitange. Naye genda eri baganda bange obagambe nti, ŋŋenda eri Kitange era Kitammwe, Katonda wange era Katonda wammwe."
Awo Yesu n’agamba nti, "Nzija kumala nammwe ebbanga ttono, ndyoke nzireyo eri oyo eyantuma.
Tewali kubuusabuusa ekyama ky’okutya Katonda kikulu ddala, era kigamba nti:
"Yalabisibwa mu mubiri,
n’akakasibwa Omwoyo nga bw’atuukiridde,
n’alabibwa bamalayika,
n’alangibwa mu mawanga,
n’akkirizibwa mu nsi,
era n’atwalibwa n’ekitiibwa mu ggulu."