Publicidade

Bem

Por Bíblia Online

Fazer o bem é mandamento de Deus e expressão prática do amor cristão. A Bíblia convida a praticar o bem a todos, com alegria, sem se cansar — porque colheremos no tempo próprio.

Lekeraawo okukola ebibi, okolenga ebirungi;

noonya emirembe era ogigobererenga.

Weesigenga Mukama okolenga bulungi,

onoobeeranga n’emirembe mu nsi n’ofuna ebirungi.

Nkyakakasiza ddala

nga ndiraba obulungi bwa Mukama

mu nsi ey’abalamu.

Jjukira, Ayi Mukama, okusaasira kwo okunene, n’okwagala kwo okungi,

kubanga byava dda.

Tojjukira bibi byange

n’obujeemu bwange eby’omu buvubuka bwange.

Onzijukire, Ayi Mukama,

ng’okwagala kwo gye ndi bwe kuli, kubanga oli mulungi.

Mukama mutuukirivu mu bikolwa bye byonna

era ayagala byonna bye yatonda.

Olwo lw’olitegeera obutuukirivu, amazima n’obwenkanya;

weewaawo buli kkubo eddungi.

Ekintu omuntu kye yeegomba kwe kwagala okutaggwaawo,

okuba omwavu kisinga okuba omulimba.

Naye ebibala eby’Omwoyo bye bino: okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, obwesigwa, obuwombeefu, okwefuga; awali ebyo tewali tteeka libiwakanya.

Noolwekyo, buli lwe kinaabanga kisobose tukolerenga abantu bonna ebirungi, na ddala ab’omu nnyumba ey’okukkiriza.

Mwekuume mulemenga okwogera ebigambo ebitasaana, wabula mwogerenga ebyo byokka ebizimba nga buli muntu bwe yeetaaga, biryoke bigase abo ababiwulira.

Mubenga ba kisa, buli omu alumirwenga munne, era musonyiwaganenga, nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo.

Mube n’okwagala okutaliimu bukuusa. Mukyawenga ekibi, munywererenga ku kirungi,

Towangulwanga kibi, naye wangulanga ekibi ng’okola obulungi.

Byonna bikkirizibwa, naye si byonna ebirimu omugaso. Byonna bikkirizibwa naye si byonna ebizimba.

Temulimbibwalimbibwanga, kubanga "emikwano emibi gyonoona empisa ennungi."

Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli, bulijjo mubeerenga n’ebibamala byonna mu buli kintu nga musukkirira mu mulimu gwonna omulungi,

Era kye njagala abakazi bambalenga ebyambalo ebisaanira, beegenderezenga, nga tebeemalira mu misono gya nviiri, ne mu kwewoomya nga bambala ebya zaabu n’amayinja ag’omuwendo, wadde okwambala engoye ez’omuwendo ennyo. Wabula babe n’ebikolwa ebirungi, nga bwe kisaanira abakazi abassaamu Katonda ekitiibwa.

eyeewaayo ku lwaffe, alyoke atununule mu bujeemu bwaffe bwonna, era yeerongooseza eggwanga ery’envuma, erinyiikirira ebikolwa ebirungi.

Noolwekyo mufubenga nnyo, okukkiriza kwammwe mukwongereko obulungi, ne ku bulungi mwongereko okutegeera, ne ku kutegeera mwongereko okwefuganga, ne ku kwefuganga mwongereko obugumiikiriza, ne ku bugumiikiriza mwongereko okutya Katonda, ne ku kutya Katonda mwongereko okufaayo ku booluganda abalala bonna ne ku kufaayo ku booluganda bonna abalala mwongereko okwagalananga.

Bwe munaafubanga okukola ekituufu, ani anaabakolanga akabi?

Kino Mukama ky’agamba nti,

"Yimirira mu masaŋŋanzira otunule.

Buuza amakubo ag’edda, buuza ekkubo eddungi gye liri,

era otambulire omwo,

emmeeme yammwe erifuna ekiwummulo.

Naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kulitambuliramu.’

Mukama mulungi,

kiddukiro mu kiseera eky’okulabiramu ennaku,

era alabirira abo bonna abamwesiga.

Era omuntu takoleeza ttabaaza ate n’agisaanikirako ekibbo, wabula agiteeka ku kikondo n’emulisiza bonna abali mu nju. Kale nammwe ebikolwa byammwe ebirungi byakirenga abantu bonna, babirabenga, bagulumize Kitammwe ali mu ggulu.

Mubeerenga ba kisa nga Kitammwe bw’ali ow’ekisa."

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-22_10-02-25-