Publicidade

Santidade

Por Bíblia Online

A santidade é o chamado supremo de Deus para o seu povo. 'Sede santos, porque eu sou santo' — essa ordem ressoa por toda a Escritura, convidando-nos a uma vida separada para Deus.

O chamado à santidade

Deus nos escolheu antes da fundação do mundo para sermos santos. A santificação é sua vontade expressa e nosso destino em Cristo.

Kale, nga Katonda eyabayita bw’ali omutukuvu, nammwe mubeerenga batukuvu mu byonna bye mukola. Nga bwe kyawandiikibwa nti, "Mubenga batukuvu, kubanga nze ndi mutukuvu."

Kale, nga Katonda eyabayita bw’ali omutukuvu, nammwe mubeerenga batukuvu mu byonna bye mukola. Nga bwe kyawandiikibwa nti, "Mubenga batukuvu, kubanga nze ndi mutukuvu."

Yatulonda okubeera mu Kristo ng’ensi tennatondebwa, ffe tube batukuvu, abataliiko kya kunenyezebwa mu maaso ge, olw’okwagala kwe.

Kubanga Katonda ayagala mutukuzibwe, era mwewalenga obwenzi, buli omu ku mmwe amanyenga okufuga omubiri gwe mu butukuvu n’ekitiibwa, so si mu kwegomba okw’obukaba ng’abamawanga abatamanyi Katonda bwe bakola. Mu nsonga eyo walemenga okubaawo ayingirira muganda we, newaakubadde amusobyako, kubanga Mukama yawoolera eggwanga mu nsonga zino. Ebintu bino byonna twabibagamba dda era ne tubawa n’obujulirwa. Kubanga Katonda teyatuyitira bugwenyufu wabula yatuyitira kutukuzibwa.

eyatulokola n’atuyita tubeere babe. Ekyo yakikola nga tasinziira ku bikolwa byaffe, wabula ng’asinziira mu kuyitibwa okutukuvu, si ng’ebikolwa byaffe bwe biri, naye olw’ekigendererwa kye ye, n’ekisa kye, kye yatukwatirwa ng’ayita mu Kristo Yesu okuva edda n’edda Lyonna.

O Deus santo

O Senhor é santo em toda a sua natureza. O universo testemunha sua santidade, e os anjos proclamam: Santo, Santo, Santo.

Songa ggwe Mutukuvu atudde ku Ntebe,

era ettendo lya Isirayiri yonna.

Tewali mutukuvu nga Mukama Katonda

tewali mulala wabula ggwe;

tewali Lwazi oluli nga Katonda waffe.

Kubanga bw’atyo bw’ayogera oyo ali waggulu

omugulumivu omulamu emirembe n’emirembe,

ow’erinnya ettukuvu nti,

"Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu

awamu n’oyo alina omwoyo oguboneredde ogwetoowaza,

okuzzaamu amaanyi

omwoyo gw’abakkakkamu,

era n’ogwabo ababoneredde.

Olwo ndyolesa obukulu bwange n’obutukuvu bwange, era ndyeraga eri amawanga mangi, ne balyoka bamanya nga Nze Mukama Katonda.’ "

Ndiraga obutukuvu bw’erinnya lyange ekkulu, eryavumisibwa mu mawanga, erinnya lye mwavumisa mu bo, era amawanga galimanya nga nze Mukama, bw’ayogera Mukama Katonda, bwe ndyolesa obutukuvu bwange mu mmwe mu maaso gaabwe.

A prática da santidade

A santidade se expressa em pensamentos puros, ações corretas e separação do pecado. É um processo contínuo de purificação e dedicação a Deus.

Okulabulwa Obutagaana Katonda

Mufubenga okuba n’emirembe n’abantu bonna, era mufubenga okuba abatukuvu, kubanga atali mutukuvu taliraba Mukama.

Okulabulwa Obutagaana Katonda

Mufubenga okuba n’emirembe n’abantu bonna, era mufubenga okuba abatukuvu, kubanga atali mutukuvu taliraba Mukama.

Abaagalwa, nga bwe tulina ebisuubizo ng’ebyo, twetukuze mu buli kintu ekyonoona omubiri n’omwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.

Abaagalwa, nga bwe tulina ebisuubizo ng’ebyo, twetukuze mu buli kintu ekyonoona omubiri n’omwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.

Naye kaakano obanga mwasumululwa mu kibi, ne mufuuka baddu ba Katonda, ebivaamu bibatuusa ku kutukuzibwa, n’enkomerero bwe bulamu obutaggwaawo.

Njogera nga nkozesa olulimi olwa bulijjo kubanga mukyali banafu. Nga bwe mwawangayo ebitundu byammwe eby’omubiri okuba abaddu b’ebirowoozo eby’obugwagwa, ne mweyongeranga okukola ebitali bya butuukirivu, bwe mutyo muweeyo ebitundu byammwe eby’omubiri okuba abaddu b’obutuukirivu, nga mweweerayo ddala eri Katonda, mube batukuvu.

Ssaddaaka Ennamu

Noolwekyo abooluganda mbeegayirira olw’okusaasira kwa Katonda, muwengayo emibiri gyammwe nga ssaddaaka ennamu entukuvu esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw’omwoyo.

Ebisembayo

Noolwekyo mbakuutira abooluganda mwegenderezenga abo abaleeta enjawukana, n’ebyesittaza ebikontana n’okuyigiriza kwe mwayiga, era mubakubenga amabega.

Nga bwe muli abantu ba Katonda abatukuvu, obwenzi, n’obugwagwa bwonna, n’omululu bireme okuwulirwa mu mmwe.

Nga bwe muli abantu ba Katonda abatukuvu, obwenzi, n’obugwagwa bwonna, n’omululu bireme okuwulirwa mu mmwe.

kale mwambulemu obulamu obw’omuntu ow’edda, avunda olw’okwegomba okw’obulimba. Mufuuke baggya olw’Omwoyo afuga ebirowoozo byammwe, era mwambale omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu kutukuzibwa okw’amazima.

Edda temwali kumpi ne Katonda, era ebirowoozo byammwe n’ebikolwa byammwe ebibi bye byabalabisa ng’abakyawa Katonda. Naye kaakano mutabaganye ne Kristo olw’okufa kwe, abanjuleyo mu maaso ga Katonda nga muli batukuvu era abataliiko bbala wadde ekyokunenyezebwa. Muteekwa okubeerera ddala mu kukkiriza nga munywedde era nga temusagaasagana okuva mu ssuubi ery’Enjiri gye mwawulira, eyabuulirwa abantu bonna abali ku nsi, nze Pawulo gye nafuukira omuweereza waayo.

A Palavra que santifica

Jesus disse: 'Santifica-os na verdade; a tua palavra é a verdade.' A Bíblia é o instrumento de Deus para nos purificar e transformar.

Obatukuze mu mazima; ekigambo kyo ge mazima.

Omuvubuka anaakuumanga atya ekkubo lye nga ttereevu?

Anaalikuumanga ng’agoberera ekigambo kyo nga bwe kiri.

Nkebera, Ayi Katonda, otegeere omutima gwange.

Ngezesa omanye ebirowoozo byange.

Olabe obanga mu nze mulimu engeri yonna enkyamu;

era onkulembere mu kkubo erintuusa mu bulamu obutaggwaawo.

Zabbuli Ya Dawudi.

Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange;

ne byonna ebiri mu nze byebaze erinnya lye ettukuvu.

Templo do Espírito Santo

Nosso corpo é templo de Deus. Devemos honrá-lo com santidade, guardando mente e coração e buscando a semelhança com Cristo.

Temumanyi nti mmwe muli yeekaalu ya Katonda era nga Omwoyo wa Katonda abeera mu mmwe?

tuwandiikira ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso n’eri abo abaatukuzibwa mu Kristo Yesu, abayitibwa abatukuvu, n’abo bonna abakoowoola erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo mu buli kifo, owaabwe era owaffe;

Mubengamu endowooza eri eyali mu Kristo Yesu,

Mulabire ku Kristo

Kale bwe wabaawo okubazaamu endasi kwonna mu Kristo, oba okusanyusa kwonna okw’okwagala, oba okussa ekimu mu mwoyo, oba okwagala okw’engeri yonna, oba okusaasira, mutuukirize essanyu lyange, mulowoozenga bumu, nga mulina okwagala, n’omwoyo gumu, nga mulowooza bumu, nga temukola kintu na kimu olw’okuvuganya wadde okwewaana okutaliimu, wabula mu bwetoowaze nga buli muntu agulumiza munne okusinga bwe mwegulumiza mwekka, nga buli muntu tatunuulira bibye yekka, naye ng’afaayo ne ku by’abalala.

Mubengamu endowooza eri eyali mu Kristo Yesu,

ye newaakubadde nga yali mu kifaananyi kya Katonda,

Teyeerowooza kwenkanankana ne Katonda,

wabula yeewaayo n’afuuka ng’omuddu,

era n’azaalibwa ng’omuntu,

era n’alabikira mu kifaananyi ky’omuntu,

ne yeetoowaza,

n’aba muwulize n’okutuukira ddala ku kufa,

ate okufa okw’okukomererwa ku musaalaba.

Katonda kyeyava amugulumiza,

n’amuwa erinnya erisinga amannya gonna;

buli vviivi ery’abo abali mu ggulu n’abali ku nsi,

era n’abali wansi w’ensi liryoke lifukaamirirenga erinnya lya Yesu,

era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama,

Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.

Okwakira Ensi

Noolwekyo abaagalwa, nga bwe muli abawulize bulijjo nga ndi nammwe, kaakano nga bwe siri nammwe mube bawulize nnyo n’okusinga bwe mwali. Munyiikirenga okukola ebiraga nti mwalokolebwa, nga mutya era nga mukankana. Kubanga Katonda yakolera mu mmwe, era yabaagazisa n’abasobozesa okukola by’ayagala, olw’okumusanyusa.

Buli kye mukola mukikolenga awatali kwemulugunya wadde empaka, mulyoke mube nga temuliiko kyakunenyezebwa nga muli balongoofu, mube abaana ba Katonda abatalina bbala, wakati mu mulembe ogwakyama era omwonoonefu, mwe mubeere ekyokulabirako eky’amaanyi mu nsi, nga munyweza ekigambo ky’obulamu gye bali, ndyoke mbeere n’ekyokwenyumiriza ku lunaku lwa Kristo, okulaga nti ssaddukira bwereere so ssaateganira busa. Naye singa ddala nfukibwa ng’ekiweebwayo ekyokunywa ku ssaddaaka ne ku kuweereza okw’obwakabona okw’okukkiriza kwammwe, nsanyukira wamu nammwe mwenna. Era nammwe musanyukire wamu nange.

Timoseewo ne Epafuladito

Mukama waffe Yesu bw’alisiima nsuubira okubatumira mangu Timoseewo, ndyoke ntereere omwoyo nga ntegedde ebibafaako. Kubanga tewali mulala alina ndowooza nga yange, kubanga abalala bonna beenoonyeza byabwe ku bwabwe, so si ebya Yesu Kristo. Naye ye Timoseewo mumumanyi nga bw’asaanira, kubanga aweerereza wamu nange, ng’omwana bw’akolera awamu ne kitaawe nga tukola omulimu gw’okubuulira Enjiri. Kale oyo gwe nsuubira okubatumira amangu ddala nga naakamanya nga bwe nnaabeera. Naye nkakasa nti Mukama waffe bw’alisiima, nange nze kennyini sirimala bbanga ddene nga sinnajja eyo.

Era ndabye nga kisaanye okubatumira owooluganda Epafuladito mukozi munnange, era mulwanyi munnange, naye ate nga mutume wammwe, omuweereza ow’ebyobwakabona ow’ebyetaago byange, ayagala ennyo okubalaba, mwenna, eyeeraliikirira ennyo olw’obutabalaba, kubanga mwawulira nga yalwala. Ddala yalwala era yali kumpi n’okufa. Kyokka Katonda yamusaasira, naye era teyasaasira ye yekka, wabula nange yansaasira ennaku n’eteenneeyongera. Noolwekyo nayagala nnyo okumutuma gye muli mulyoke musanyuke okumulaba nate, ekyo kikendeeze ku nnaku gye nnina. Kale mumwanirize nnyo n’essanyu lyonna mu Mukama waffe, era abantu abali ng’oyo mubassangamu ekitiibwa, kubanga yabulako katono okufa ng’ali ku mulimu gwa Kristo, ng’akola ebyo bye mwandinkoledde singa mwali nange.

Naye mmwe kibagwanira okubeeranga abatuukirivu nga Kitammwe ali mu ggulu bw’ali Omutuukirivu."

"Tewali muntu akoleeza ttaala ate nagisaanikirako akalobo oba n’agissa wansi w’ekitanda. Agiwanika waggulu ku kikondo, olwo lw’esobola okumulisiza abantu abayingira.

Munoonyenga okukola obulungi, so si obubi

munaabeeranga balamu!

Bw’atyo Mukama Katonda ow’Eggye anaabeeranga mubeezi wammwe

nga bulijjo bwe mumuyita.

"Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera,

era n’okumanya oyo Omutukuvu Katonda, kwe kutegeera.

Kyambika eri omuntu okwanguyiriza okweyama eri Mukama,

naye oluvannyuma n’afumiitiriza ku bye yeeyamye.

Kibasaanira okubeeranga abatukuvu gye ndi, kubanga Nze, Mukama, ndi mutukuvu, era mbaawudde ku mawanga amalala mubeerenga ggwanga lyange.

Kibasaanira okubeeranga abatukuvu gye ndi, kubanga Nze, Mukama, ndi mutukuvu, era mbaawudde ku mawanga amalala mubeerenga ggwanga lyange.

" Noolwekyo mwetukuze mubeerenga batukuvu, kubanga Nze Mukama Katonda wammwe.

Muyimbire Katonda,

muyimbe nga mutendereza erinnya lye;

mumuyimusize amaloboozi gammwe oyo atambulira mu bire.

Erinnya lye ye Mukama, mujagulize mu maaso ge.

Ye Kitaawe w’abataliiko bakitaabwe, ye mukuumi wa bannamwandu;

ye Katonda abeera mu kifo kye ekitukuvu.

Seja o primeiro
Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-28_14-13-17-