Publicidade

O que é bom

Por Bíblia Online

O que é bom vem de Deus. A Bíblia celebra a bondade divina e nos convida a discernir, praticar e desfrutar tudo o que é bom — porque toda boa dádiva vem do Pai das luzes.

Awo Katonda n’alaba byonna by’akoze nga birungi nnyo. Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwomukaaga.

Mukama mulungi, era wa mazima,

noolwekyo ayigiriza aboonoonyi ekkubo lye.

Naye nze kye nsinga okwetaaga kwe kubeera okumpi ne Katonda wange.

Ayi Mukama Katonda, nkufudde ekiddukiro kyange;

ndyoke ntegeezenga abantu bonna ebikolwa byo eby’ekyewuunyo.

Kirungi okwebazanga Mukama,

n’okuyimba ennyimba n’okutenderezanga erinnya lyo, Ayi Ggwe, Ali Waggulu Ennyo;

okutendanga okwagala kwo okutakoma buli nkya,

n’okutendanga obwesigwa bwo buli kiro.

Okukutenderezanga n’amaloboozi g’enkoba z’ennanga

n’endere awamu n’entongooli.

Kubanga Mukama mulungi, n’okwagala kwe kwa lubeerera;

n’obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.

Laba bwe kiri ekirungi era nga kisanyusa,

abooluganda okubeera awamu nga batabaganye.

Kubanga mbawa okuyigiriza okulungi;

temulekanga biragiro byange.

Okuddamu obulungi kisanyusa,

era kirungi ekigambo ekirungi okujjira mu kiseera ekituufu.

Mwana wange olyanga omubisi gw’enjuki kubanga mulungi,

omubisi oguva mu bisenge byagwo guwoomerera.

Era manya nti amagezi gawoomera emmeeme yo,

bw’onoogafuna onoobeera n’essuubi mu bulamu obw’omu maaso,

n’essuubi lyo teririkoma.

Amagezi kintu kirungi, okufaanana ng’eky’obugagga ky’obusika,

era kigasa abo abakyalaba enjuba.

Mukama mulungi eri abo abamulinamu essuubi,

eri oyo amunoonya.

Kirungi omuntu okulindirira

obulokozi bwa Mukama n’obukkakkamu.

Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi ky’oteekwa okukola.

Kaakano, Mukama kiki ky’akwetaaza,

okuggyako okukola eby’ensonga, okuba n’ekisa

era n’okutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.

Noolwekyo amateeka matukuvu, era n’ekiragiro kitukuvu, kiruŋŋamya era kirungi.

So temwefaananyirizanga ba mirembe gino, naye mukyusibwe olw’okudda obuggya mu birowoozo byammwe okukakasibwa okusiimibwa kwa Katonda, okusanyusa era okw’amazima.

Ekirungi ekiri mu mmwe kireme okuvumibwa.

Okusookera ddala, mbasaba, musabenga, mwegayirirenga, era mwebazenga Katonda ku lw’abantu bonna. Era musabirenga bakabaka n’abafuzi abalala bonna, tulyoke tube bulungi nga tuli mirembe, nga tussaamu Katonda ekitiibwa, era nga twegendereza mu buli ngeri. Ekyo kirungi era ekisiimibwa mu maaso ga Katonda Omulokozi waffe,

Kubanga buli kitonde kya Katonda kyonna kirungi, era tekizira, kasita kiriirwa mu kwebaza, kubanga kitukuzibwa na kigambo kya Katonda, n’okukisabira.

Buli kirabo ekirungi ekituukiridde, kiva mu ggulu eri Kitaffe, eyatonda eby’omu bbanga ebyaka, atakyukakyuka newaakubadde okwefuula ekirala.

"Omunnyo mulungi, naye bwe guggwaamu ensa, guzzibwamu gutya obuka bwagwo? Noolwekyo mube n’omunnyo mu mmwe era mubeerenga n’emirembe buli muntu ne munne."

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-22_10-02-25-