Publicidade

Casa de Deus

Por Bíblia Online

A casa de Deus é lugar de adoração, refúgio e encontro com o Sagrado. A Bíblia exalta o tabernáculo, o templo e a igreja como morada do Altíssimo entre seu povo.

A presença de Deus

Quão amáveis são os teus tabernáculos! Uma coisa pedi ao Senhor: habitar na casa do Senhor todos os dias da minha vida.

Okumala olunaku olumu mu mpya zo,

kisinga okubeera emyaka olukumi mu bifo ebirala.

Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange,

okusinga okubeeranga mu weema z’abakola ebibi.

Ekintu kimu kye nsaba Mukama,

era ekyo kye nnoonya:

okubeeranga mu nnyumba ya Mukama

ennaku zonna ez’obulamu bwange,

ne ndabanga obulungi bwa Mukama,

era ne nsinzizanga mu Yeekaalu ye.

Alina omukisa oyo gw’olonda

n’omusembeza okumpi naawe, abeerenga mu mpya zo.

Tunaamalibwanga ebirungi eby’omu nnyumba yo;

eby’omu Yeekaalu yo entukuvu.

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.

Nasanyuka bwe baŋŋamba nti,

"Tugende mu nnyumba ya Mukama!"

Ddala ddala obulungi n’okwagala okutaggwaawo binaagendanga nange

ennaku zonna ez’obulamu bwange;

nange nnaabeeranga mu nnyumba ya Mukama,

ennaku zonna.

Naye nze nfaanana ng’omuti omuzeyituuni

ogukulira mu nnyumba ya Katonda.

Neesiga okwagala kwa Katonda okutaggwaawo

emirembe n’emirembe.

Nzijudde obuggya olw’ennyumba yo,

n’abo abakuvuma bavuma nze.

O templo

Minha casa será chamada casa de oração. O zelo da tua casa me consumiu. O verdadeiro templo é o corpo do cristão.

Yesu mu Yeekaalu

Awo Yesu n’ayingira mu Yeekaalu n’agobamu abasuubuzi bonna n’avuunika emmeeza z’abaali bawaanyisa ensimbi n’entebe z’abaali batunda amayiba. N’abagamba nti, "Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu,’ naye mmwe mugifudde ‘empuku y’abanyazi.’"

Yesu Alongoosa Yeekaalu

Embaga y’Abayudaaya ey’Okuyitako bwe yali eneetera okutuuka Yesu n’ayambuka e Yerusaalemi. N’asanga mu Yeekaalu abaali batunda ente n’endiga n’amayiba era n’abali bawaanyisa ensimbi. Awo Yesu n’addira emiguwa n’agifunyaafunya ne giba ng’embooko n’agobawo endiga n’ente, n’asaasaanya n’ensimbi ez’abaali bawaanyisa, n’avuunika n’emmeeza zaabwe. N’akyukira abaali batunda amayiba n’abagamba nti, "Bino mubiggye wo. Temufuula Nnyumba ya Kitange katale." Awo abayigirizwa ne bajjukira Ekyawandiikibwa ekigamba nti, "Obuggya bw’Ennyumba yo, Ayi Mukama, bulindya."

Oba temumanyi ng’omubiri gwammwe ye Yeekaalu ya Mwoyo Mutukuvu Katonda gwe yabawa, era n’emibiri gyammwe si gyammwe ku bwammwe?

kyokka bwe ndirwa omanye by’osaana okukola mu nnyumba ya Katonda, ye Ekkanisa ya Katonda omulamu, empagi n’omusingi eby’amazima.

Naye ate Kristo ye Mwana omwesigwa, akulira ennyumba ya Katonda; ate ffe tuli nnyumba y’oyo bwe tunywera ne tuba bavumu ne twenyumiririza mu ssuubi lye tunywezezza.

"Bajjajjaffe baatambula mu ddungu nga beetisse Eweema ey’Endagaano, eyakolebwa nga Katonda bwe yalagirira Musa ng’efaanana nga bwe yagimulaga. Bajjajjaffe bajja bagisituzza abaana baabwe, okutuusa Yoswa lwe yajja nayo okulya ensi y’abamawanga Katonda be yagobanga mu maaso ga bajjajjaffe. Eweema n’ebeerawo okutuusa ku mirembe gya Dawudi. Dawudi n’asiimibwa Katonda, era n’asaba azimbire Katonda wa Yakobo ennyumba. Naye Sulemaani ye yagizimba.

"Naye oyo Ali Waggulu Ennyo tabeera mu nnyumba zizimbiddwa bantu. Nga nnabbi bw’agamba nti,

" ‘Eggulu y’entebe yange ey’obwakabaka.

N’ensi ke katebe kwe nteeka ebigere byange.

Mukama n’agamba nti,

Ononzimbira nnyumba ya ngeri ki?

Oba kifo ki mwe ndiwummulira?

Omukono gwange si gwe gwakola ebyo byonna!’

Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda,

"Eggulu y’entebe yange kwe nfugira

n’ensi ke katebe kwe mpummuliza ebigere byange,

nnyumba ki gye mulinzimbira?

Kifo ki kye mulimpa okuwummuliramu?

Ebintu bino byonna emikono gyange si gye gyagikola,

noolwekyo ebintu bino byonna byange?"

bw’ayogera Mukama Katonda.

"Ono ye muntu gwe ntunulako;

oyo ow’eggonjebwa era omwetoowaze mu mwoyo,

oyo akankanira ekigambo kyange.

Awo Yakobo n’ava mu tulo n’agamba nti, "Mazima ddala Mukama ali mu kifo kino, nze mbadde ssimanyi." N’atya nnyo, n’agamba nti, "Ekifo kino nga kyantiisa! Ekifo kino ye nnyumba ya Katonda, era guno gwe mulyango gw’eggulu."

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-22_10-02-25-