Publicidade

Corpo é o templo de Deus

Por Bíblia Online

O corpo do cristão é templo de Deus. Ele habita em nós pelo Espírito Santo, fazendo do crente morada viva e sagrada do Altíssimo.

Templo do Deus vivo

Vós sois o templo do Deus vivo. Deus disse: habitarei neles e entre eles andarei. O criador mora em sua criação redimida.

Temumanyi nti mmwe muli yeekaalu ya Katonda era nga Omwoyo wa Katonda abeera mu mmwe? Omuntu yenna azikiriza Yeekaalu ya Katonda, Katonda alizikiriza omuntu oyo; kubanga Yeekaalu ya Katonda ntukuvu, ye mmwe.

Oba temumanyi ng’omubiri gwammwe ye Yeekaalu ya Mwoyo Mutukuvu Katonda gwe yabawa, era n’emibiri gyammwe si gyammwe ku bwammwe? Kubanga mwagulibwa na muwendo, noolwekyo emibiri gyammwe gigulumizenga Katonda.

Yeekaalu ya Katonda ne bakatonda abalala bibeera bitya obumu? Kubanga ffenna tuli Yeekaalu ya Katonda omulamu. Nga Katonda bwe yagamba nti,

"Nnaabeeranga mu bo

era natambuliranga mu bo,

nnaabeeranga Katonda waabwe,

nabo banaabeeranga bantu bange."

Noolwekyo temukyali baamawanga oba abagwira, wabula muli ba kika kimu n’abatukuvu, abantu ba Katonda, era muli ba mu nnyumba ya Katonda. Mwazimbibwa ku musingi ogw’abatume ne bannabbi, nga Kristo Yesu ly’ejjinja ekkulu ery’oku nsonda. Mu oyo ffenna tuzimbibwa wamu ne tugattibwa wamu ne tubeera essinzizo ettukuvu mu Mukama waffe. Era nammwe mwazimbibwa wamu mu kizimbe ekyo Kristo ky’azimbye okubeeranga ekifo Omwoyo wa Katonda mwabeera.

Kubanga buli nnyumba wabaawo agizimba, naye Katonda ye y’azimba buli kintu. Musa yali muweereza mwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna, eyayogera eby’obunnabbi ku bintu ebyali bigenda okwogerwa mu biro eby’omu maaso. Naye ate Kristo ye Mwana omwesigwa, akulira ennyumba ya Katonda; ate ffe tuli nnyumba y’oyo bwe tunywera ne tuba bavumu ne twenyumiririza mu ssuubi lye tunywezezza.

Musa yali muweereza mwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna, eyayogera eby’obunnabbi ku bintu ebyali bigenda okwogerwa mu biro eby’omu maaso. Naye ate Kristo ye Mwana omwesigwa, akulira ennyumba ya Katonda; ate ffe tuli nnyumba y’oyo bwe tunywera ne tuba bavumu ne twenyumiririza mu ssuubi lye tunywezezza.

Cristo em nós

Já não sou eu quem vive, mas Cristo vive em mim. A presença de Deus no crente é privilégio e responsabilidade sagrada.

kyokka ndi mulamu, si ku bwange, wabula ku bwa Kristo abeera mu nze; era obulamu bwe nnina kaakano mu mubiri, mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda, eyanjagala ne yeewaayo yekka ku lwange.

Yesu n’amuddamu nti, "Omuntu yenna anjagala anaagonderanga ekigambo kyange, ne Kitange anaamwagalanga, era Nze ne Kitange tunajjanga ne tubeera mu ye era tunaatuulanga mu ye.

Obugumiikiriza

Kale abooluganda nga bwe tulina obuvumu okuyingira mu Watukuvu w’Awatukuvu olw’omusaayi gwa Yesu, eyatuggulirawo ekkubo eriggya era eddamu eriyita mu lutimbe, gwe mubiri gwe, kale nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu nga y’afuga ennyumba ya Katonda, tusembere awali Katonda n’omwoyo ogw’amazima ogujjudde okukkiriza nga tulina emitima egitukuzibbwa okuva mu ndowooza embi, era nga n’emibiri gyaffe ginaazibbwa n’amazzi amatukuvu.

Naye mwe muli kika kironde, bakabona bw’obwakabaka, eggwanga ettukuvu, abantu ba Katonda bennyini. Mwalondebwa mulyoke mutende ebirungi bya Katonda eyabaggya mu kizikiza n’abayingiza mu butangaavu bwe obutenkanika.

Seja o primeiro
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-07-05_19-25-13-