A comunhão
A comunhão cristã é dom e mandamento. Juntos somos mais fortes. A Bíblia celebra a unidade dos crentes em Cristo como antecipação do céu na terra.
Nze nga ndi mu bo, era naawe ng’oli mu Nze balyoke bafuukire ddala omuntu omu. Ensi eryoke etegeere nga ggwe wantuma era nti obaagala nga bw’onjagala."
"Mbawa ekiragiro ekiggya: Mwagalanenga nga nze bwe mbaagala. Bwe munaayagalananga abantu bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange."
Abakkiriza ne bakuŋŋaananga bulijjo mu kifo kimu, ne baba nga bassa kimu mu byonna. Eby’obugagga byabwe n’ebintu bye baalina ne babitunda ne bagabira buli muntu ng’okwetaaga kwe bwe kwabanga. Ne banyiikiranga okukuŋŋaananga mu Yeekaalu buli lunaku, era ne bakuŋŋaananga ne mu maka gaabwe nju ku nju okumenya omugaati, ne baliiranga wamu emmere yaabwe n’essanyu lingi n’omutima ogutalina bukuusa, nga batendereza Katonda, era nga basiimibwa abantu bonna. Mukama n’abongerangako bulijjo abaalokolebwanga.
Tubategeeza ekyo kye twawulira era kye twalaba, mulyoke mutwegatteko, mubeere bumu naffe, era mussekimu ne Kitaffe awamu n’Omwana we Yesu Kristo.
Mu kino mwe tutegeerera okwagala, kubanga yawaayo obulamu bwe ku lwaffe, era naffe kyetuva tuteekwa okuwaayo obulamu bwaffe olw’abooluganda.
Kale mugumyaganenga era muzimbaganenga nga bwe mubadde mukola.
kwe kugamba: twezengamu amaanyi ffekka ne ffekka olw’okukkiriza kwe tulina.
Tuleme kulekayo kukuŋŋaana, ng’abamu bwe bakola, naye buli muntu agumye munne, na ddala nga bwe mulaba nti, Olunaku lw’okudda kwa Mukama waffe lusembedde.
Ng’ekyuma bwe kiwagala ekyuma,
n’omuntu bw’abangula muntu munne.
Muyambaganenga, bwe mutyo bwe munaatuukirizanga etteeka lya Kristo.
Noolwekyo, buli lwe kinaabanga kisobose tukolerenga abantu bonna ebirungi, na ddala ab’omu nnyumba ey’okukkiriza.
Ababiri basinga omu,
kubanga bagasibwa nnyo mu kukola kwabwe.
Kubanga singa omu agwa,
munne amuyimusa.
Naye zimusanze oyo ali obw’omu,
bw’agwa tabaako amuyimusa.
Ababiri bwe bagalamira bombi awamu babuguma;
naye oyo ali obw’omu, ayinza atya okubuguma?
Omu awangulwa mangu,
kyokka ababiri bayinza okwerwanako.
Kubanga omuguwa ogw’emiyondo esatu tegukutuka mangu.