Consolador
O Espírito Santo é o Consolador prometido por Jesus. Ele consola os aflitos, fortalece os fracos e nos assegura que nunca estaremos sós.
O Consolador prometido
Jesus prometeu: Eu rogarei ao Pai e Ele vos dará outro Consolador para que fique convosco para sempre.
nange ndisaba Kitange n’abawa Omubeezi omulala anaabeeranga nammwe emirembe n’emirembe,
Siribaleka nga bamulekwa, ndikomawo gye muli.
Naye Omubeezi, Mwoyo Mutukuvu, Kitange gw’alituma mu linnya lyange, bw’alijja alibayigiriza ebintu byonna era alibajjukiza byonna bye nabagamba.
"Kyokka mmwe ndibatumira Omubeezi okuva eri Kitange, Omwoyo ow’amazima ava eri Kitange era alibategeeza buli ekinfaako.
Naye mbategeereza ddala nti ekisinga obulungi gye muli Nze kwe kugenda. Kubanga bwe sigenda Omubeezi tagenda kujja, kyokka bwe ŋŋenda, ndimutuma gye muli.
Consolo divino
Bendito seja o Deus de toda consolação. Ele nos consola em toda tribulação e enxuga toda lágrima de nossos olhos.
Katonda oyo Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’okusaasira era Katonda azaamu bonna amaanyi yeebazibwe, atuzaamu amaanyi mu kubonaabona kwonna kwe tuyitamu, tulyoke tugumye abalala abayita mu kubonaabona okwa buli ngeri, olw’okugumya kwe tufuna nga Katonda atuzaamu amaanyi.
Kubanga nga bwe tugabana ku kubonaabona kwa Kristo, ne Kristo bw’atyo bw’atuzzaamu amaanyi.
Kaakano Katonda w’okugumiikiriza era azaamu amaanyi, abawe okulowoozanga obumu buli omu eri munne mu Kristo Yesu,
Ebyeraliikiriza omutima gwange bwe byayitirira obungi,
okusaasira kwo ne kuzzaamu omwoyo gwange amaanyi.
Bwe nnali mu nnaku empitirivu, nakoowoola Mukama,
n’annyanukula, n’agimponya.
Tebaliddayo kulumwa njala
wadde ennyonta,
newaakubadde omusana okubookya
wadde ekyokya ekirala kyonna;
kubanga Omwana gw’Endiga ayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka,
y’anaabeeranga omusumba waabwe
era y’anaabakulemberanga okubatwala eri ensulo ez’amazzi ag’obulamu.
Era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe."
"Nze, nze mwene, nze nzuuno abawa amaanyi.
Mmwe baani abatya omuntu alifa,
n’omwana w’omuntu ali ng’omuddo,
Balina omukisa abali mu nnaku,
kubanga abo balisanyusibwa.