Corpo de Cristo
A Igreja é o Corpo de Cristo — organismo vivo onde cada membro tem função única e indispensável. Cristo é a cabeça; nós somos seus membros.
Um corpo, muitos membros
Assim como o corpo é um e tem muitos membros, assim é Cristo. Nós somos o corpo de Cristo e individualmente seus membros.
Omubiri Guli Gumu naye Ebitundu byagwo Bingi
Kuba omubiri nga bwe guli ogumu, ne guba n’ebitundu bingi, ate ebitundu byonna ne byegatta ne biba omubiri gumu, kale, ne Kristo bw’ali bw’atyo.
Kale mwenna awamu muli mubiri gwa Kristo, era buli omu ku mmwe kitundu kyagwo.
Temumanyi ng’emibiri gyammwe bitundu bya Kristo? Ate nzirire ebitundu bya Kristo mbifuule eby’omwenzi? Kikafuuwe.
Kubanga nga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu, ebitundu ebyo byonna bikola emirimu gya njawulo. Noolwekyo nga bwe tuli omubiri ogumu mu Kristo, buli muntu kitundu ku mubiri ogumu ogwo.
Omubiri nga bwe guli ogumu, n’Omwoyo omu, n’essuubi liri limu ery’okuyitibwa kwammwe.
Mu ye omubiri gwonna mwe gugattirwa obulungi awamu, ne guyungibwa mu buli nnyingo, nga gukola ng’ekigera kya buli kitundu bwe kuli, nga gukula era nga gwezimba mu kwagala.
Cristo, a cabeça
Ele é a cabeça do corpo, que é a igreja. O corpo cresce e se edifica em amor quando cada parte faz o seu trabalho.
Ye gwe mutwe gw’omubiri, n’omubiri ogwo ye Kkanisa. Ye mubereberye, era ye yasooka okuzuukira mu bafu, alyoke abeerenga omubereberye mu byonna.
Okufuba kwa Pawulo ku lw’Ekkanisa
Kaakano nsanyuka olw’okubonaabona kwe mbonaabona ku lwammwe. Era kindeetera essanyu, kubanga ntuukiriza okubonaabona kwa Kristo mu mubiri gwange, nga mbonaabona ku lw’omubiri gwe, ye Kkanisa.
N’emirembe gya Kristo gifugenga emitima gyammwe, kubanga emirembe egyo gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mwebazenga.
Tewali n’omu yali akyaye omubiri gwe, wabula aguliisa era agujjanjaba nga Kristo bw’ajjanjaba Ekkanisa ye, kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe.