Dia das crianças
As crianças são preciosas aos olhos de Deus. Jesus as acolheu, abençoou e ensinou que delas é o Reino dos Céus — modelos de fé, pureza e humildade.
Jesus e as crianças
Deixai vir a mim as crianças. Jesus abraçou, abençoou e honrou as crianças como modelo de fé para os adultos.
Naye Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, "Mukkirize abaana abato bajje gye ndi so temubaziyiza, kubanga abafaanana ng’abo be bannannyini bwakabaka obw’omu ggulu."
Omukulu mu Bwakabaka obw’Omu Ggulu
Mu kiseera ekyo abayigirizwa ba Yesu ne bajja gy’ali nga bagamba nti, "Ani asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu?"
Yesu n’ayita omwana omuto n’amussa mu makkati gaabwe. N’abagamba nti, "Ddala ddala mbagamba nti bwe mutakyuke kufaanana ng’abaana abato temugenda kuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu. Noolwekyo buli eyeetoowaza ng’omwana ono omuto y’aliba asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu.
Olugero lw’Endiga Eyabula
"Mwekuume obutanyoomanga n’omu ku baana bano abato. Kubanga mbagamba nti bamalayika baabwe ennaku zonna babeera mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.
Naye bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka bwe baalaba eby’ekitalo bye yakola, n’abaana abato abaali mu Yeekaalu nga baleekaanira waggulu nti, "Ozaana Omwana wa Dawudi!" ne banyiiga.
Ne bamubuuza nti, "Owulira bano bye bagamba?"
Yesu n’abaddamu nti, "Mpulira. Temusomangako nti,
" ‘Abaana abato n’abawere abayonka
balimutendereza!’ "
Ddala ddala mbagamba nti omuntu yenna atakkiriza bwakabaka bwa Katonda ng’omwana omuto, tagenda kubuyingira n’akatono." Awo n’asitula abaana n’abassaako emikono gye, n’abawa omukisa.
N’addira omwana omuto n’amussa wakati waabwe, n’amusitula mu mikono gye n’abagamba nti, "Buli asembeza omwana omuto ng’ono mu linnya lyange, aba asembezezza nze. N’oyo asembeza nze aba tasembezezza nze nzekka, wabula aba asembezezza n’oyo eyantuma."
Instruir e proteger
Instrui a criança no caminho de Deus. Elas são herança do Senhor — presentes sagrados que devemos educar com amor.
Manyiiriza omwana mu kkubo erimugwanira okutambulirangamu,
ne bw’alikula talirivaamu.
N’abaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama;
n’emirembe gy’abaana bo giriba mingi.
Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama;
era abaana mpeera gy’agaba okuva gy’ali.
Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu bintu byonna kubanga ekyo ky’ekisanyusa Katonda.
Nammwe bakitaabwe temunyiizanga baana bammwe baleme okuddirira mu mwoyo.
Abazadde n’Abaana Baabwe
Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu Mukama waffe, kubanga bwe mukola mutyo, mukola kituufu. "Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa," eryo lye tteeka erisooka eririmu okusuubiza nti: Bw’onoobanga obulungi, era n’owangaala ku nsi. Nammwe abazadde, temunyigirizanga baana bammwe, wabula mubakuze nga mubagunjula era nga mubayigiriza ebya Mukama waffe.
" ‘Mukama Katonda akuwe omukisa,
akukuume;
Mukama Katonda akwakize amaaso ge
akukwatirwe ekisa;
Mukama Katonda akwolekeze amaaso ge
akuwe emirembe.’