Dia dos pais
O Dia dos Pais celebra o amor e o sacrifício paterno. A Bíblia honra os pais como provedores, protetores e guias espirituais que moldam as próximas gerações.
O pai que educa
Instrui a criança no caminho em que deve andar. O pai justo educa com amor, firmeza e o exemplo de uma vida íntegra.
Manyiiriza omwana mu kkubo erimugwanira okutambulirangamu,
ne bw’alikula talirivaamu.
Atakozesa kaggo akyawa omwana we,
naye oyo amwagala afaayo okumukangavvula.
Omuntu omutuukirivu, atambulira mu bulamu obutaliiko kyakunenyezebwa;
ba mukisa abaana be abalimuddira mu bigere.
Kitaawe w’omutuukirivu alina essanyu lingi,
n’oyo azaala omwana ow’amagezi amwenyumiririzaamu.
Atya Mukama alina ekiddukiro eky’amaanyi,
era n’abaana be balibeera n’obuddukiro.
Honra e alegria
Honra a teu pai e tua mãe. Os filhos são herança do Senhor, e a família que serve a Deus junta é inabalável.
Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, olyoke owangaale mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa.
Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama;
era abaana mpeera gy’agaba okuva gy’ali.
Ng’obusaale bwe bubeera mu mukono gw’omulwanyi,
n’abaana abazaalibwa mu buvubuka bw’omuntu bwe bali bwe batyo.
Alina omukisa omuntu oyo
ajjuzza ensawo ye n’obusaale,
kubanga tebaliswazibwa;
balyolekera abalabe baabwe mu mulyango omunene.
Naye bwe muba temwagala kuweereza Mukama, mulondeewo leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda babajjajjammwe abaali emitala w’omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab’Abamoli, bannannyini nsi mwe muli. Naye nze n’ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama Katonda."
Mutunulenga, munywerere mu kukkiriza, mubeere bazira era ab’amaanyi.
Bw’atyo n’asitula n’addayo ewa kitaawe.
"Naye bwe yali ng’akyaliko wala n’awaka, kitaawe n’amulengera ng’ajja, n’amusaasira nnyo. Kitaawe ng’ajjudde amaziga n’amusisinkana, n’amugwa mu kifuba n’amunywegera. Omwana n’agamba kitaawe nti, ‘Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go. Sikyasaanira kuyitibwa mwana wo.’
"Naye kitaawe n’alagira abaddu be nti, ‘Mwanguwe mangu! Muleete ekkanzu esinga obulungi mugimwambaze. Mumunaanike empeta ku ngalo ye, mumwambaze n’engatto! Era mugende mutte ennyana eya ssava. Tufumbe embaga nnene tujaguze.