Dinheiro
O dinheiro é ferramenta que pode ser usada para o bem ou para o mal. A Bíblia nos ensina a administrar recursos com sabedoria, generosidade e temor ao Senhor.
Perspectiva bíblica
Guardai-vos da avareza. A vida não consiste na abundância de bens. O dinheiro é servo, nunca senhor.
N’abagamba nti, "Mwekuume! Temululunkananga. Kubanga obulamu bw’omuntu tebugererwa ku bugagga bw’abeera nabwo."
Kubanga obugagga bwo gye buli n’omutima gwo gye gunaabeeranga."
"Mukama we n’amugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi era mwesigwa, obadde mwesigwa mu bintu ebitono, ndikusigira ebintu ebingi. Yingira sanyukira wamu ne mukama wo.’
Eby’obugagga obikubako eriiso limu nga by’agenze dda,
kubanga ddala bimera ebiwaawaatiro
ne bibuuka mu bbanga ng’empungu.
Teweemalangako mirembe ng’oyaayaanira obugagga;
weefuge obeere mukkakkamu.
Oyo alulunkanira ensimbi, tasobola kuba na nsimbi zimumala;
wadde oyo alulunkanira obugagga n’amagoba:
na kino nakyo butaliimu.
Administrar com sabedoria
Honra ao Senhor com as tuas primícias. O sábio administra seus recursos com prudência e visão de eternidade.
Mukama mugulumizenga n’eby’obugagga byo; n’ebibala ebisooka eby’ebintu byo byonna eby’omu nnimiro yo,
Omukisa gwa Mukama guleeta obugagga
era tagwongerako buyinike.Mukama
Eby’obugagga ebifuniddwa mu makubo amakyamu tebirina kye bigasa,
naye abatuukirivu banunulwa okuva mu kufa.
Ensimbi enkumpanye ziggwaawo,
naye ezijja empolampola zeeyongera obungi.
Okufuna amagezi nga kusinga nnyo okufuna zaabu,
era n’okufuna okutegeera kikira ffeeza!
Erinnya eddungi lyagalibwa okusinga eby’obugagga ebingi,
n’okuganja kusinga ffeeza oba zaabu.
Okuba n’akatono ng’otya Mukama,
kusinga okuba n’ebingi naye ng’oli mu mitawaana.
Ekintu omuntu kye yeegomba kwe kwagala okutaggwaawo,
okuba omwavu kisinga okuba omulimba.
Ebigambo eby’obutaliimu n’eby’obulimba binteeke wala,
ate era tonjavuwazanga wadde okungaggawaza,
naye ndiisanga emmere eya buli lunaku.
Perigos e armadilhas
Quem quer enriquecer cai em tentação. Fuja do amor ao dinheiro e busque contentamento no Senhor.
Abo abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu katego ak’okwegomba okw’obusirusiru era okw’akabi, okunnyika abantu mu kubula ne mu kuzikirira.
Okuutirenga abagagga ab’omu mirembe gya kaakano, obuteekuluntaza, wadde okwesiga obugagga kubanga si bwa lubeerera, wabula beesige Katonda atuwa byonna olw’okwesanyusanga,
Mwewalenga omululu, bye mulina bibamalenga. Kubanga Katonda yagamba nti,
"Sirikuleka
era sirikwabulira n’akatono."
Obugagga tebugasa ku lunaku olw’okusalirwako omusango,
naye obutuukirivu buwonya okufa.
Obugagga bw’omugagga, kye kibuga kye ekiriko bbugwe ow’amaanyi,
era mu kulaba kwe, kigo kye ekigumu ekitarinnyika.
Tudo vem de Deus
De ti vem tudo, e das tuas mãos to damos. Os tributos são devidos — dai a César o que é de César e a Deus o que é de Deus.
"Naye nze ani n’abantu bange kye ki, ffe okusobola okuwaayo bwe tutyo nga ffe tweyagalidde? Byonna biva gy’oli, era tukuwadde ku bibyo.
Abantu bonna basasulenga ebibabanjibwa; musasulenga emisolo eri abo be muteekwa okuwa omusolo, n’ow’empooza mumuwenga empooza; n’oyo ateekwa okutiibwa mumutyenga, n’oyo ateekwa okuweebwa ekitiibwa mumuwenga ekitiibwa.
Era kyemuva muwa omusolo kubanga abakozi abo baweereza ba Katonda nga banyiikirira emirimu gyabwe.
Ebitono omutuukirivu by’alina
bisinga obugagga bw’ababi abangi;
kubanga amaanyi g’abakola ebibi galikoma,
naye Mukama anaawaniriranga abatuukirivu.
Nsanyukira okugondera ebiragiro byo,
ng’asanyukira eby’obugagga.