Publicidade

Domínio próprio

Por Bíblia Online

O domínio próprio é fruto do Espírito e marca de maturidade espiritual. A Bíblia ensina que quem governa o próprio espírito é melhor do que quem conquista uma cidade.

Fruto do Espírito

O fruto do Espírito inclui domínio próprio. A graça de Deus nos ensina a viver de maneira sóbria e justa neste mundo.

Naye ebibala eby’Omwoyo bye bino: okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, obwesigwa, obuwombeefu, okwefuga; awali ebyo tewali tteeka libiwakanya.

Kubanga ekisa kya Katonda ekireetera abantu bonna obulokozi kirabise, era kituyigiriza tuleke obutatya Katonda, n’okwegomba kw’ensi, tulyoke tube beegendereza, abatuukirivu abatya Katonda nga tuli mu mulembe gwa kaakano; nga tulindirira olunaku lwe tusuubira, n’okulabika kw’ekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waffe Yesu Kristo;

Kubanga Mwoyo wa Katonda, gwe yatuwa tatufuula bati, wabula atuwa amaanyi, n’okwagala era n’okwegendereza.

Noolwekyo mufubenga nnyo, okukkiriza kwammwe mukwongereko obulungi, ne ku bulungi mwongereko okutegeera, ne ku kutegeera mwongereko okwefuganga, ne ku kwefuganga mwongereko obugumiikiriza, ne ku bugumiikiriza mwongereko okutya Katonda, ne ku kutya Katonda mwongereko okufaayo ku booluganda abalala bonna ne ku kufaayo ku booluganda bonna abalala mwongereko okwagalananga.

Governar a si mesmo

Melhor é o que domina o seu espírito do que o que toma uma cidade. A cidade sem muros é o homem sem domínio próprio.

Omuntu omugumiikiriza asinga omutabaazi,

n’oyo afuga obusungu bwe akira awamba ekibuga.

Omuntu ateefuga

ali ng’ekibuga ekimenyeemenye ne kirekebwa nga tekirina bbugwe.

Omusirusiru alaga obusungu bwe bwonna,

naye omuntu ow’amagezi abuziyiza n’abukkakkanya.

Mu bigambo ebingi temubula kwonoona,

naye akuuma olulimi lwe aba wa magezi.

Temumanyi nga mu mpaka ez’okudduka abo bonna abazeetabamu badduka, naye awangula ekirabo abeera omu? Kale nammwe muddukenga bwe mutyo nga mufubirira okuwangula ekirabo. Buli muzanyi eyeetaba mu mpaka ateekwa okufuna okutendekebwa okw’amaanyi nga yeefuga mu bintu byonna. Ekyo bakikola balyoke bawangule engule eyonooneka. Naye ffe tulifuna engule eteyonooneka. Noolwekyo nziruka nga nnina kye ŋŋenderera. Sirwana ng’omukubi w’ebikonde amala gawujja n’akuba ebbanga. Naye mbonereza omubiri gwange ne ngufuula omuddu wange, si kulwa nga mbuulira abalala Enjiri, ate nze nzennyini ne sisiimibwa.

Naye bwe baba tebasobola kwefuga bafumbirwe, oba bawase, kubanga okufumbiriganwa kisinga okwakiriranga okw’okwegomba.

Tewali kukemebwa kubatuukako okutali kwa bantu; kyokka Katonda mwesigwa, kubanga taabalekenga kutuukibwako kukemebwa kwe mutayinza kugumira, naye anaabasobozesanga okubigumira, n’abalaga n’ekkubo ery’okubiwangula.

Disciplina e vigilância

Sede sóbrios e vigilantes. O diabo anda em derredor como leão rugidor. A sobriedade nos protege e fortalece.

Mutunulenga, mwekuume omulabe wammwe Setaani, atambulatambula ng’empologoma enjala gy’eruma egenda ng’ewuluguma ng’enoonya gw’eneerya. Mumwaŋŋange ng’abalumbye, nga mwesiga Mukama, era mujjukire nti ebibonoobono ebiri ng’ebyo bituuka ne ku bakkiriza abalala mu nsi yonna.

Okukozesa Obulungi Ebirabo Katonda by’Atuwa

Enkomerero ya byonna eneetera okutuuka. Noolwekyo mwetegeke era mwegenderezenga, era bulijjo musabenga Katonda.

Obulamu Obuggya

Kale nga Kristo bwe yabonyaabonyezebwa mu mubiri, nammwe mumalirire okubonaabona nga ye. Kubanga abonaabona mu mubiri aba takyafugibwa kibi. Okuva kaakano nga muli mu nsi muno, mugoberere ebyo Katonda by’ayagala, so si kugoberera kwegomba kwammwe okw’omubiri. Mu biseera ebyayita mwemaliranga mu kukola ebyo Abaamawanga bye beegombanga. Mwali mwemalidde mu bwenzi, mu kwegomba okubi, mu butamiivu, mu binyumu, mu bubaga obw’omwenge, ne mu kusinza bakatonda abalala. Kaakano abo abatakkiriza Katonda beewuunya era babavuma bwe balaba nga temukyabeegattako mu ebyo bye bakola. Abantu abo baliwoza mu maaso ga Katonda. Kubanga yeeteeseteese okulamula abalamu n’abafu ng’asinziira ku ebyo bye baakola.

buli omu ku mmwe amanyenga okufuga omubiri gwe mu butukuvu n’ekitiibwa, so si mu kwegomba okw’obukaba ng’abamawanga abatamanyi Katonda bwe bakola.

O senhorio de Cristo

Todo domínio pertence a Cristo. Ele é Senhor dos senhores e Rei dos reis — e nos capacita a viver em santidade.

Mwebaze Mukama, mmwe ebitonde bye byonna

ebiri mu matwale ge gonna.

Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.

Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera,

n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe.

Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa,

n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.

"Mu kwolesebwa okwo ekiro ne ndaba, laba, omuntu eyafaanana ng’omwana w’omuntu, ng’ajja n’ebire eby’omu ggulu. N’ajja okumpi n’Owedda n’Edda, n’asembezebwa mu maaso ge. N’aweebwa obuyinza, n’ekitiibwa, n’obwakabaka n’amaanyi agava waggulu; abantu bonna, n’amawanga gonna, n’abantu ab’ennimi zonna ne bamusinzanga. Okufuga kwe kwa mirembe na mirembe, tekuliggwaawo, n’obwakabaka bwe tebulizikirizibwa.

Lye ssanyu lyange okubategeeza ku bigambo eby’amagero era ebikulu Katonda Ali Waggulu Ennyo byankoledde.

Obubonero bwe nga bukulu,

n’ebyamagero bye nga byewuunyisa!

Obwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe;

N’okufuga kwe tekuliggwaawo.

Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe,

omwana owoobulenzi atuweereddwa ffe,

n’okufuga kunaabanga ku bibegabega bye.

N’erinnya lye aliyitibwa nti,

Wa kitalo, Omuwi w’amagezi, Katonda Ayinzabyonna,

Kitaffe ow’Emirembe Gyonna, Omulangira w’Emirembe.

Okufuga kwe n’emirembe

biryeyongeranga obutakoma.

Alifugira ku ntebe ya Dawudi ne ku bwakabaka bwe,

n’okubuwanirira n’obwenkanya n’obutuukirivu

okuva leero okutuusa emirembe gyonna.

Obumalirivu bwa Mukama Katonda ow’Eggye

bulikituukiriza ekyo.Mukama

Katonda eyatuwonya n’atuggya mu maanyi g’ekizikiza aga Setaani, n’atutwala mu bwakabaka bw’Omwana we omwagalwa, atusonyiwa ebibi byaffe, n’atufuula ba ddembe.

amaanyi ago ge yakozesa mu Kristo bwe yamuzuukiza mu bafu, n’amutuuza ku mukono gwe ogwa ddyo waggulu mu ggulu. Waggulu eyo, Kristo gy’afugira obufuzi bwonna, n’obuyinza bwonna, n’amaanyi gonna, n’obwami bwonna, na buli kitiibwa kyonna ekiweebwa omuntu. Afugira mu mulembe guno, era alifugira ne mu mulembe ogugenda okujja.

Kyokka ffe obutaka bwaffe buli mu ggulu, era Omulokozi, Mukama waffe Yesu Kristo, gye tumulindirira okuva. Kale bw’alijja emibiri gyaffe gino eminafu egifa aligifuula ng’ogugwe ogw’ekitiibwa, ng’akozesa amaanyi okussa ebintu byonna mu buyinza bwe.

Tumanyi nti, nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu, takyafa nate, okufa tekukyamufuga.

N’abo abafugibwa omubiri tebayinza kusanyusa Katonda.

Naye mmwe temufugibwa mubiri wabula mufugibwa Mwoyo, kubanga Omwoyo wa Katonda abeera mu mmwe. Era omuntu yenna bw’ataba na Mwoyo wa Kristo, oyo si wa Kristo.

Kuba ng’abantu bonna bwe baafa olwa Adamu, era bwe batyo bonna balifuulibwa abalamu olwa Kristo. Kyokka buli omu mu luwalo lwe, Kristo ye yasooka era bw’alijja ababe ne baddako, olwo enkomerero n’eryoka etuuka, Kristo n’akwasa Katonda Kitaawe obwakabaka; Kristo ng’amaze okuzikiriza obufuzi bwonna, n’obuyinza bwonna era n’amaanyi gonna. Kubanga Kristo agwanidde okufuga okutuusa bw’alissa abalabe be bonna wansi w’ebigere bye.

"Okufuga kwa Katonda n’entiisa ya Katonda;

ateekawo enkola entuufu mu bifo ebya waggulu mu ggulu.

Seja o primeiro
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-07-05_19-25-13-