Publicidade

Oséias 5

Isirayiri Asalirwa Omusango

1 Muwulire kino mmwe bakabona!

Musseeyo omwoyo, mmwe Isirayiri!

Muwulirize, mmwe ennyumba ya Kabaka!

Omusango guli ku mmwe:

Mubadde kyambika e Mizupa,

era ekitimba ekitegeddwa ku Taboli.

2 Abajeemu bamaliridde okutta,

naye ndibabonereza bonna.

3 Mmanyi byonna ebikwata ku Efulayimu,

so ne Isirayiri tankisibwa.

Efulayimu weewaddeyo okukuba obwamalaaya,

ne Isirayiri yeeyonoonye.

4 Ebikolwa byabwe tebibaganya

kudda eri Katonda waabwe,

kubanga omwoyo ogw’obwamalaaya guli mu mitima gyabwe,

so tebamanyi Mukama.

5 Amalala ga Isirayiri gabalumiriza;

Abayisirayiri ne Efulayimu balyesittala olw’omusango gwabwe;

ne Yuda alyesittalira wamu nabo.

6 Bwe baligenda n’ebisibo byabwe n’amagana gaabwe

okunoonya Mukama,

tebalimulaba;

abaviiridde, abeeyawuddeko.

7 Tebabadde beesigwa eri Mukama;

bazadde abaana aboobwenzi.

Embaga ez’omwezi ogwakaboneka

kyeziriva zibamalawo, n’ennimiro zaabwe ne ziragajjalirwa.

8 Mufuuwe eŋŋombe mu Gibea,

n’ekkondeere mu Laama.

Muyimuse amaloboozi e Besaveni;

mutukulembere mmwe Benyamini.

9 Efulayimu alifuuka matongo

ku lunaku olw’okubonerezebwa.

Nnangirira ebiribaawo

mu bika bya Isirayiri.

10 Abakulembeze ba Yuda bali ng’abo

abajjulula ensalo,

era ndibafukako obusungu bwange

ng’omujjuzo gw’amazzi.

11 Efulayimu anyigirizibwa,

era omusango gumumezze,

kubanga yamalirira okugoberera bakatonda abalala.

12 Kyenvudde nfuuka ng’ennyenje eri Efulayimu,

n’eri ennyumba ya Yuda n’emba ng’ekintu ekivundu.

13 "Efulayimu bwe yalaba obulwadde bwe,

ne Yuda n’alaba ekivundu kye,

Efulayimu n’addukira mu Bwasuli,

n’atumya obuyambi okuva eri kabaka waayo omukulu.

Naye tasobola kubawonya

newaakubadde okubajjanjaba ebiwundu byabwe.

14 Kyendiva mbeera ng’empologoma eri Efulayimu,

era ng’empologoma ey’amaanyi eri ennyumba ya Yuda.

Ndibataagulataagula ne ŋŋenda;

ndibeetikka ne mbatwala, ne babulwako ayinza okubawonya.

15 Ndiddayo mu kifo kyange,

okutuusa lwe balikkiriza omusango gwabwe.

Balinnoonya,

mu buyinike bwabwe, balinnoonya n’omutima gwabwe gwonna."

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-15_21-32-39-