Pular para o conteúdo
Publicidade

Estudar a Bíblia

Por Bíblia Online

Estudar a Bíblia é mergulhar na mente de Deus. A Palavra é lâmpada para os pés, espada do Espírito e alimento para a alma. O cristão que estuda cresce em sabedoria e maturidade.

A importância do estudo

Os bereanos eram mais nobres porque examinavam as Escrituras diariamente. Estudar a Bíblia é mandamento e privilégio.

Abayudaaya b’omu Beroya baali balungi okusinga ab’e Sessaloniika, ne bawuliriza bulungi n’essanyu Ekigambo ekyababuulirwa. Buli lunaku nga babikkula Ebyawandiikibwa okunoonyaamu ebyo Pawulo ne Siira bye baayogerangako bakakase nti bya mazima.

Fubanga okweraga ng’osiimibwa Katonda, ng’oli mukozi akola ebitakuswaza, era nga weekuumira mu kkubo ery’obubaka obw’amazima.

Kubanga okuva mu buto bwo wamanya Ebyawandiikibwa Ebitukuvu ebiyinza okukufuula ow’amagezi, n’olokolebwa olw’okukkiriza Kristo Yesu. Ebyawandiikibwa Ebitukuvu byonna, Katonda ye yabiruŋŋamya nga biwandiikibwa, era bigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kuluŋŋamya ne mu kubuuliranga omuntu abe omutuukirivu, omuntu wa Katonda alyoke abe ng’atuukiridde, ng’alina byonna ebyetaagibwa okukola buli mulimu omulungi.

Nyiikiranga okusomera abantu Ebyawandiikibwa mu lwatu n’okubuuliriranga, n’okuyigiriza okutuusa lwe ndijja.

Munoonya mu Byawandiikibwa kubanga mulowooza nti muyinza okubifuniramu obulamu obutaggwaawo. Kyokka Ebyawandiikibwa ebyo bye binjulira.

Meditar e guardar

Não se aparte a lei do Senhor da tua boca. Medita nela de dia e de noite para que cumpras tudo o que nela está escrito.

Ekitabo kino eky’amateeka tekikuvanga mu kamwa, okifumiitirizangako emisana n’ekiro olyoke oteekenga mu nkola ebyo bye kikulagira era bw’otyo bw’oneefunira obuwanguzi n’okukulaakulana.

Ekigambo kyo ye ttaala eri ebigere byange,

era kye kimulisa ekkubo lyange.

Amateeka go nga ngagala nnyo!

Ngafumiitirizaako olunaku lwonna.

Amateeka go ganfuula mugezi okusinga abalabe bange,

kubanga ge gannuŋŋamya bulijjo.

Ntegeera okusinga abasomesa bange bonna,

kubanga nfumiitiriza nnyo ebyo bye walagira.

Omuvubuka anaakuumanga atya ekkubo lye nga ttereevu?

Anaalikuumanga ng’agoberera ekigambo kyo nga bwe kiri.

Nkunoonya n’omutima gwange gwonna;

tonzikiriza kuva ku mateeka go.

Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange;

ndyoke nneme okwonoona.

Ogulumizibwe, Ayi Mukama;

onjigirize amateeka go.

Njatula n’akamwa kange

amateeka go gonna ge walagira.

Nsanyukira okugondera ebiragiro byo,

ng’asanyukira eby’obugagga.

Nnaafumiitirizanga ku biragiro byo,

ne nzisaayo omwoyo ku makubo go.

Nnaasanyukiranga amateeka go,

era siigeerabirenga.

ג Gimero

Nga njiga ebiragiro byo ebitukuvu,

nnaakutenderezanga n’omutima omulungi.

Estudo diligente

Esdras preparou o coração para buscar e ensinar a lei. O estudo exige disciplina, constância e coração aberto.

Yasitula okuva e Babulooni ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’olubereberye, n’atuuka e Yerusaalemi ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogwokutaano, kubanga omukono gwa Katonda we omulungi gwali wamu naye. Ezera yali amaliridde mu mutima gwe okusoma n’okukuuma Etteeka lya Mukama, era n’okuyigirizanga amateeka n’ebiragiro byalyo mu Isirayiri.

Oyagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’omwoyo gwo gwonna, n’amaanyi go gonna. Amateeka gano ge nkuwa leero ogakwatanga ku mutima gwo. Ogayigirizanga abaana bo n’obwegendereza. Ogoogerengako bw’onoobanga otudde mu maka go, ne bw’onoobanga otambula mu kkubo, bw’onoobanga ogalamiddeko, ne bw’onoobanga ogolokose. Onoogasibanga ku mikono gyo, nga bwe bubonero obw’okukujjukizanga, era ogatekanga ne ku kyenyi kyo. Onoogawandiikanga ku myango gy’ennyumba yo, era ne ku nzigi zo.

Bw’anaamalanga okutebenkera ku ntebe ey’obwakabaka bwe, anaakoppololeranga amateeka gano mu kitabo ng’agaggyanga ku ga bakabona, Abaleevi. Ekitabo ekyo anaabeeranga nakyo bulijjo, era anaakisomanga ennaku zonna ez’obulamu bwe, alyokenga ayige okutyanga Mukama Katonda we, ng’agobereranga n’obwegendereza ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano, ne mu biragiro, nga teyeekulumbaza kusukkirira ku bannansi banne, era nga takyama kuva ku mateeka gano okulaga ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono. Bw’anaakolanga bw’atyo, ye, n’ezzadde lye banaafuganga mu bwakabaka bwe, mu Isirayiri, okumala ennaku nnyingi.

Engero za Sulemaani, mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isirayiri.

Yaziwandiika okuyigiriza abantu okuba n’amagezi n’okuyiga,

era n’okutegeera ebigambo eby’obulabufu; eby’obulamu eby’amagezi n’empisa.

Sulemaani yayagala abantu okuba n’empisa, n’obulamu obw’amagezi,

okukolanga ebituufu, n’okubeera abenkanya n’okugobereranga ensonga;

okuyigiriza amagezi abatalina bumanyirivu,

n’abavubuka okufuna okumanya n’okutegeera.

N’abantu ab’amagezi nabo bwe bawulira beeyongere okuyiga

n’abategeevu beeyongere okubangulwa.

Era engero zino zaawandiikibwa okutegeera engero,

enjogera n’ebikokyo.

Emikisa Egiva mu kuba n’Amagezi

Mwana wange, teweerabiranga bintu bye nakuyigiriza,

era okuumanga ebiragiro byange mu mutima gwo,

kubanga bijja kuwangaaza obulamu bwo ku nsi,

era bikukulaakulanye.

Nywerezanga ddala okuyigirizibwa, tokutanga:

kukuumenga kubanga bwe bulamu bwo.

Kubanga amateeka ttabaaza,

era n’okuyigiriza kitangaala,

okukulabula olw’okukuluŋŋamya,

ly’ekkubo ery’obulamu,

Proteção e crescimento

Quem ignora a Palavra perece. Toda Escritura é útil — crescei na graça e no conhecimento do nosso Senhor.

Abantu bange bazikiridde olw’obutamanya.

"Kyemunaava mulema

okubeera bakabona bange;

era olw’okulagajjalira etteeka lya Katonda wo,

nange kyendiva ndagajjalira abaana bo.

Tudde eri amateeka n’obujulirwa! Bwe baba teboogera bwe batyo, mazima obudde tebugenda kubakeerera.

Yesu n’abaddamu nti, "Ekibaleetedde okukyama bwe butamanya byawandiikibwa, n’obutategeera maanyi ga Katonda.

Kubanga ebyawandiikibwa byonna edda, byawandiikibwa kutuyigiriza, tulyoke tugumiikirizenga era tuzzibwemu amaanyi, ate tube n’essuubi.

Kale, mmwe abaagalwa, ebyo nga bwe mubitegedde, mwekuume muleme kukyamizibwa abantu abo abajeemu, si kulwa nga babaleetera okugwa ne muva we munyweredde. Mweyongere okukula mu kisa ne mu kutegeera Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.

Oyo aweebwenga ekitiibwa kaakano n’emirembe gyonna. Amiina.

Bannabbi baafuba nga bwe baasobola okuvumbula era n’okutegeera okulokolebwa kuno, ne bategeeza eby’omu maaso ku kisa kya Katonda ky’agenda okubawa. Omwoyo wa Kristo ng’ali mu bo, yategeeza eby’omu maaso ku kubonaabona kwa Kristo era n’ekitiibwa ekiriddirira, ne bafuba okuvumbula omuntu gwe kirituukako n’ekiseera we kirituukira.

Seja o primeiro