Família
A família é a primeira instituição criada por Deus. Ele a projetou para ser escola de amor, fé e formação de caráter. A Bíblia honra a família e nos ensina a cuidar dela.
Eu e minha casa
Eu e minha casa serviremos ao Senhor. A família que serve a Deus juntos permanece unida e fortalecida em todas as circunstâncias.
Naye bwe muba temwagala kuweereza Mukama, mulondeewo leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda babajjajjammwe abaali emitala w’omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab’Abamoli, bannannyini nsi mwe muli. Naye nze n’ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama Katonda."
Naye bwe muba temwagala kuweereza Mukama, mulondeewo leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda babajjajjammwe abaali emitala w’omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab’Abamoli, bannannyini nsi mwe muli. Naye nze n’ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama Katonda."
Ne bamugamba nti, "Kkiriza Mukama waffe Yesu onoolokolebwa, ggwe n’ennyumba yo yonna."
Mukama Katonda waffe abeere wamu naffe nga bwe yali ne bajjajjaffe, era aleme okutuleka wadde okutwabulira.
Criar os filhos
Instrui a criança no caminho em que deve andar. O lar é a primeira escola de fé e obediência.
Manyiiriza omwana mu kkubo erimugwanira okutambulirangamu,
ne bw’alikula talirivaamu.
Manyiiriza omwana mu kkubo erimugwanira okutambulirangamu,
ne bw’alikula talirivaamu.
Amagezi eri Abavubuka
Mwana wange ossangayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawo,
era tolekanga kukuutira kwa maama wo;
bijja kuba ngule eneeweesanga omutwe gwo ekitiibwa,
n’emikuufu mu bulago bwo.
Okulabula Ku Bwenzi
Mwana wange nyweza ebiragiro bya kitaawo,
era togayaalirira kuyigiriza kwa maama wo.
Amateeka gano ge nkuwa leero ogakwatanga ku mutima gwo. Ogayigirizanga abaana bo n’obwegendereza. Ogoogerengako bw’onoobanga otudde mu maka go, ne bw’onoobanga otambula mu kkubo, bw’onoobanga ogalamiddeko, ne bw’onoobanga ogolokose.
Amateeka gano ge nkuwa leero ogakwatanga ku mutima gwo. Ogayigirizanga abaana bo n’obwegendereza. Ogoogerengako bw’onoobanga otudde mu maka go, ne bw’onoobanga otambula mu kkubo, bw’onoobanga ogalamiddeko, ne bw’onoobanga ogolokose.
Nammwe abazadde, temunyigirizanga baana bammwe, wabula mubakuze nga mubagunjula era nga mubayigiriza ebya Mukama waffe.
Nammwe abazadde, temunyigirizanga baana bammwe, wabula mubakuze nga mubagunjula era nga mubayigiriza ebya Mukama waffe.
Abazadde n’Abaana Baabwe
Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu Mukama waffe, kubanga bwe mukola mutyo, mukola kituufu. "Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa," eryo lye tteeka erisooka eririmu okusuubiza nti:
Honrar e amar
Honra teu pai e tua mãe. A família funciona com perdão, paciência e amor incondicional entre todos os seus membros.
Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, olyoke owangaale mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa.
Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, olyoke owangaale mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa.
ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko era yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’ "
Okugattululwa
Awo Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo n’ava e Ggaliraaya n’ajja mu bitundu bya Buyudaaya okusukka emitala wa Yoludaani. Ekibiina kinene ne bamugoberera era n’awonya abalwadde baabwe.
Abafalisaayo ne bajja gy’ali bamugezese nga bagamba nti, "Kikkirizibwa omusajja okugoba mukazi we olw’ensonga n’emu?"
Yesu n’abaddamu nti, "Temusomanga nti, ‘Okuva ku lubereberye Katonda yatonda omusajja n’omukazi,’ era nti, ‘Omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina, ne yeegatta ne mukazi we. Nabo banaabanga omuntu omu, nga tebakyali babiri naye omuntu omu.’ Noolwekyo Katonda be yagatta awamu, omuntu tabaawukanyanga."
Ne bamubuuza nti, "Kale lwaki Musa yalagira nti omusajja bw’abanga agoba mukazi we amuwenga ebbaluwa ey’okumugoba?"
Yesu n’abaddamu nti, "Olw’obukakanyavu bw’emitima gyammwe, Musa kyeyava abakkiriza okugoba bakazi bammwe, naye nga okuva olubereberye tekyali bwe kityo. Era mbagamba nti omuntu yenna anaagobanga mukazi we okuggyako olw’obwenzi, n’amala awasa omulala, anaabanga ayenze, n’oyo anaawasanga oyo agobeddwa anaabanga ayenze."
Abayigirizwa ne bamugamba nti, "Obanga bwe biri bwe bityo, ekisingako obulungi bwe butawasiza ddala!"
Yesu n’abaddamu nti, "Abantu bonna tebayinza kutegeera kigambo kino okuggyako abo Katonda b’akiwa. Kubanga abamu bazaalibwa nga tebasobola kuwasa abalala balaayibwa bantu bannaabwe ate abalala bagaana okuwasa ne beewaayo okukola omulimu ogw’obwakabaka obw’omu ggulu. Buli asobola okutegeera kino akitegeere."
Yesu n’Abaana
Yesu ne bamuleetera abaana abato abasseeko emikono gye abawe n’omukisa. Naye abayigirizwa ne bajunga abaabaleeta.
Naye Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, "Mukkirize abaana abato bajje gye ndi so temubaziyiza, kubanga abafaanana ng’abo be bannannyini bwakabaka obw’omu ggulu." N’abassaako emikono n’abawa omukisa n’alyoka avaayo.
Omuvubuka Omugagga
Awo omuntu omu n’amusemberera n’amubuuza nti, "Omuyigiriza, nkole ki ekirungi okufuna obulamu obutaggwaawo?"
Yesu n’amuddamu nti, "Lwaki ombuuza ebikwata ku birungi? Omulungi ali omu, naye bw’obanga oyagala okuyingira mu bulamu, ggondera amateeka."
N’amuddamu nti, "Ge galuwa?"
Yesu n’amugamba nti, " ‘Tottanga, toyendanga, tobbanga, towaayirizanga, ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko era yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’ "
Omuvubuka oyo n’amuddamu nti, "Ebyo byonna nabikwata dda, ate kiki ekimpeebuuseeko?"
Yesu n’amugamba nti, "Obanga oyagala okuba omutuukirivu genda otunde ebibyo, ensimbi ozigabire abaavu, kale oliba n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere."
Naye omuvubuka bwe yawulira ebyo n’agenda ng’anakuwadde kubanga yali mugagga.
Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, "Ddala ddala mbagamba nti, kizibu omugagga okuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu. Era mbategeeza nti kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y’empiso, okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!"
Ebigambo ebyo abayigirizwa be ne bibeewuunyisa nnyo, n’okugamba ne bagamba nti, "Kale ani ayinza okulokolebwa?"
Yesu n’abatunuulira enkaliriza n’abagamba nti, "Eri abantu tekiyinzika. Naye Katonda, ayinza byonna."
Awo Peetero n’abuuza Yesu nti, "Ffe twaleka byonna ne tukugoberera. Kale ffe tulifuna ki?"
Yesu n’amuddamu nti, "Ddala ddala mbagamba nti, Omwana w’Omuntu bw’alituula ku ntebe ye ey’ekitiibwa mu nsi empya, nammwe abangoberera mulituula ku ntebe ekkumi n’ebbiri nga mulamula ebika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri. Na buli muntu yenna eyaleka ennyumba, oba baganda be, oba bannyina, oba kitaawe oba nnyina, oba baana be, oba ttaka lye olw’erinnya lyange aliweebwa okwenkana emirundi kikumi, era alisikira obulamu obutaggwaawo. Bangi aboolubereberye, abaliba abooluvannyuma, n’ab’oluvannyuma ne baba aboolubereberye."
Mubenga ba kisa, buli omu alumirwenga munne, era musonyiwaganenga, nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo.
Kale, nammwe buli musajja ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yennyini, era n’omukazi assengamu bba ekitiibwa.
Omuntu yenna bw’agamba nti, "Njagala Katonda," naye n’akyawa muganda we, omuntu oyo mulimba. Kubanga buli atayagala muganda we gw’alabako, tasobola kwagala Katonda gw’atalabangako.
Cuidar da família
Quem não cuida dos seus negou a fé. A família é responsabilidade sagrada — prover, proteger e abençoar é mandamento divino.
Naye omuntu yenna bw’atalabirira bantu be, na ddala ab’omu nnyumba ye, aba yeegaanyi okukkiriza, era aba mubi okusinga atakkiriza.
Naye omuntu yenna bw’atalabirira bantu be, na ddala ab’omu nnyumba ye, aba yeegaanyi okukkiriza, era aba mubi okusinga atakkiriza.
Nnamwandu bw’abanga n’abaana oba abazzukulu basookenga okuyiga ebyo ebikolebwa mu maka ge waabwe, nga bassaayo omwoyo ku bazadde baabwe era n’okubalabirira. Kubanga ekyo kisanyusa Katonda.
Kaakano mbeegayirira abooluganda, mu Iinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mukkiriziganyenga mwekka na mwekka muleme okwawukananga. Naye mube n’omutima gumu n’endowooza emu.
Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama;
era abaana mpeera gy’agaba okuva gy’ali.
Ng’obusaale bwe bubeera mu mukono gw’omulwanyi,
n’abaana abazaalibwa mu buvubuka bw’omuntu bwe bali bwe batyo.
Alina omukisa omuntu oyo
ajjuzza ensawo ye n’obusaale,
kubanga tebaliswazibwa;
balyolekera abalabe baabwe mu mulyango omunene.
Naye okwagala kwa Katonda eri abo abamutya tekuggwaawo
emirembe gyonna,
n’obulokozi bwe eri abaana b’abaana baabwe.
Be bo abakuuma endagaano ye
ne bajjukira okugondera amateeka ge.
Naye okwagala kwa Katonda eri abo abamutya tekuggwaawo
emirembe gyonna,
n’obulokozi bwe eri abaana b’abaana baabwe.
Be bo abakuuma endagaano ye
ne bajjukira okugondera amateeka ge.
Laba bwe kiri ekirungi era nga kisanyusa,
abooluganda okubeera awamu nga batabaganye.
Unidade familiar
A coroa dos velhos são os filhos dos filhos. O casamento, os filhos e a comunhão familiar são bênçãos de Deus.
Abazzukulu ngule ya bajjajjaabwe,
era n’abaana beenyumiririza mu bakadde baabwe.
Abazzukulu ngule ya bajjajjaabwe,
era n’abaana beenyumiririza mu bakadde baabwe.
Omukwano ogw’amagezi guba gwa lubeerera,
era owooluganda yeesigibwa mu biro eby’ennaku.
Akwana emikwano emingi yeereetera okuzikirira,
naye wabaawo ow’omukwano akwagala ennyo okusinga owooluganda.
Mukwano gwo ne mukwano gwa kitaawo tobaabuuliranga,
olemenga okutawaana okuswala ewa muganda wo ng’ogudde mu mitawaana.
Muliraanwa wo akira muganda wo akuli ewala.
Mwana wange, bw’oba n’omutima ogw’amagezi,
kinsanyusa.
Kitaawe w’omutuukirivu alina essanyu lingi,
n’oyo azaala omwana ow’amagezi amwenyumiririzaamu.
Engero za Sulemaani
Engero za Sulemaani:
Omwana ow’amagezi asanyusa kitaawe;
naye omwana omusirusiru anakuwaza nnyina.
Malirizanga omulimu gwo ogw’ebweru,
oteeketeeke ennimiro zo,
n’oluvannyuma olyoke weezimbire ennyumba yo.
Oyo anoonya okugaggawalira mu bukyamu aleetera ennyumba ye emitawaana,
naye oyo akyawa enguzi aliba mulamu.
Omuntu aleeta emitawaana mu maka g’ewaabwe, alisikira mpewo;
era n’omusirusiru aliba muddu w’oyo alina omutima ogw’amagezi.
Casamento e família
O homem deixará pai e mãe e se unirá à sua mulher. A família começa no casamento — aliança sagrada diante de Deus.
Noolwekyo omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omubiri gumu.
Katonda n’abawa omukisa, n’abagamba nti, "Mwale mujjuze ensi, mugifugenga. Mufugenga ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga na buli kiramu ekitambula ku nsi."
Ssanyukanga ne mukyala wo gw’oyagala ennaku zo zonna, mu bulamu buno obutaliimu, Katonda bw’akuwadde wansi w’enjuba, kubanga ekyo gwe mugabo gwo mu kutegana kwo kw’oteganamu wansi w’enjuba.
Naye okuva ku lubereberye yabatonda omusajja n’omukazi. Omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, n’agenda n’agattibwa ne mukazi we. Olwo nga tebakyali babiri, wabula nga bafuuse omubiri gumu. Noolwekyo Katonda be yagatta awamu, omuntu tabaawukanyanga."
Kale obanga mmwe ababi muwa abaana bammwe ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa Mwoyo Mutukuvu abo abamusaba?"
"Nnyina w’omwana ayinza okwerabira omwana we gw’ayonsa,
n’atasaasira mwana eyava mu lubuto lwe?
Weewaawo, wadde ng’ayinza okumwerabira
naye nze sirikwerabira.
Laba, nkuwandiise mu bibatu by’engalo zange;
ebisenge byo binaabeeranga mu maaso gange.
Abaagalwa, kaakano tuli baana ba Katonda, naye tetumanyi bwe tuliba. Kyokka tumanyi nti bw’alirabika tulifaanana nga ye, kubanga tulimulabira ddala nga bw’ali. Buli muntu alina essuubi eryo yeetukuza nga Katonda bw’ali omutukuvu.