Publicidade

Filho de Deus

Por Bíblia Online

Jesus é o Filho de Deus — a revelação suprema do Pai. Nele habita toda a plenitude da divindade e por Ele temos acesso ao Pai, à salvação e à vida eterna.

A revelação do Filho

O Filho é o resplendor da glória de Deus. Quem vê o Filho vê o Pai. Jesus é a imagem perfeita do Deus invisível.

Amasamasa n’ekitiibwa kya Katonda, era ky’ekifaananyi kye ddala bw’ali, era abeezaawo buli kintu olw’ekigambo kye eky’amaanyi. Bwe yamala okukola ekikolwa eky’okututukuza okuva mu bibi, n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda mu Bwakabaka obw’omu ggulu. Bw’atyo n’asinga bamalayika, nga kyeragira ku linnya lye okuba ery’ekitiibwa okusinga amannya gaabwe.

Kigambo n’afuuka omubiri, n’abeera mu ffe, ne tulaba ekitiibwa kye, ng’ekyoyo omu yekka eyava eri kitaffe ng’ajjudde ekisa n’amazima.

Tewali n’omu eyali alabye ku Katonda, okuggyako Omwana we omu yekka, abeera mu kifuba kya kitaffe, oyo ye yatutegeeza byonna ebimufaako.

Yesu n’abaddamu nti, "Kitange bulijjo akola, nange nteekwa okukola." Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta, kubanga teyakoma ku kya kumenya mateeka ga Ssabbiiti kyokka, naye yeeyita Omwana wa Katonda, ne yeefuula eyenkanaankana ne Katonda.

Confissão e fé

Tu és o Cristo, o Filho do Deus vivo! Quem confessa que Jesus é o Filho de Deus, Deus permanece nele.

Peetero Ayatula Kristo

Awo Yesu bwe yatuuka mu kitundu kya Kayisaliya ekya Firipo n’abuuza abayigirizwa be nti, "Abantu Omwana w’Omuntu bagamba nti ye ani?"

Ne bamuddamu nti, "Yokaana Omubatiza, abalala nti Eriya, n’abalala nti Yeremiya oba omu ku bannabbi."

Awo Yesu n’ababuuza nti, "Mmwe mundowooza kuba ani?"

Simooni Peetero n’addamu nti, "Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu."

Awo amangwago Yesu nga yakamala okubatizibwa nga yaakava mu mazzi, eggulu ne libikkuka n’alaba Omwoyo wa Katonda ng’amukkako mu kifaananyi ky’ejjiba. Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, "Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo."

Kale buli ayatula nti Yesu Mwana wa Katonda, nga Katonda ali mu ye era nga naye ali mu Katonda.

Katonda yatulaga okwagala kwe, bwe yatuma mu nsi Omwana we omu yekka bw’ati, tulyoke tube abalamu ku bw’oyo. Mu kino mwe tutegeerera ddala okwagala kwennyini, kubanga teyakikola lwa kuba nti ffe twali twagala Katonda, naye ye yennyini ye yatwagala, n’awaayo Omwana we ng’omutango olw’ebibi byaffe.

naye buli akola ekibi wa Setaani, kubanga okuva olubereberye Setaani akola bibi. Omwana wa Katonda kyeyava ajja mu nsi azikirize ebikolwa bya Setaani.

Buli alina Omwana alina obulamu, naye oyo atalina Mwana wa Katonda talina bulamu.

Vida no Filho

Deus enviou seu Filho ao mundo para que vivêssemos por Ele. O Filho dá vida, julga e reconcilia os pecadores com o Pai.

"Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bw’atyo n’awaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.

Kubanga nga Kitaawe w’Omwana bw’azuukiza abafu, bw’atyo n’Omwana awa obulamu abo baayagala. Era Kitaawe w’Omwana talina n’omu gw’asalira musango, naye obuyinza obw’okusala emisango gyonna yabuwa Omwana we, abantu bonna balyoke bassengamu Omwana ekitiibwa nga bwe bassa mu Kitaawe ekitiibwa. Atassaamu Mwana kitiibwa, ne Kitaawe eyamutuma tamussaamu kitiibwa.

Ddala ddala mbagamba nti, Ekiseera kijja, era kituuse, abafu lwe baliwulira eddoboozi ly’Omwana wa Katonda, era n’abaliwulira baliba balamu. Kubanga nga Kitaawe w’Omwana bw’alina obulamu mu ye, bw’atyo bwe yawa Omwana okuba n’obulamu mu ye,

Naye bonna abaamusembeza, yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda; be bo abakkiriza erinnya lye. Abataazaalibwa musaayi, oba okwagala kw’omubiri, wadde okwagala kw’omuntu, naye abaazaalibwa okwagala kwa Katonda.

kyokka ndi mulamu, si ku bwange, wabula ku bwa Kristo abeera mu nze; era obulamu bwe nnina kaakano mu mubiri, mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda, eyanjagala ne yeewaayo yekka ku lwange.

Naye ekiseera bwe kyatuuka, Katonda n’atuma Omwana we eyazaalibwa omukazi ng’afugibwa amateeka, tulyoke tufuuke abaana. Era kubanga tuli baana, Katonda yatuma Omwoyo w’Omwana we okubeera mu mitima gyaffe, era kaakano tuyinza okwogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, "Aba, Kitaffe."

Kale obanga bwe twali tukyali balabe ba Katonda twatabaganyizibwa naye mu kufa kw’Omwana we, bwe tutabagana naye tetulisingawo nnyo okulokolebwa olw’obulamu bwe?

Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe,

omwana owoobulenzi atuweereddwa ffe,

n’okufuga kunaabanga ku bibegabega bye.

N’erinnya lye aliyitibwa nti,

Wa kitalo, Omuwi w’amagezi, Katonda Ayinzabyonna,

Kitaffe ow’Emirembe Gyonna, Omulangira w’Emirembe.

Seja o primeiro
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-07-05_19-25-13-