Publicidade

Fim do mundo

Por Bíblia Online

A Bíblia fala sobre o fim do mundo como evento certo e definitivo. Céus e terra passarão, mas as palavras de Jesus jamais passarão. A questão não é se, mas quando.

Os céus passarão

Os céus e a terra passarão, mas as palavras de Jesus permanecerão para sempre. O mundo presente é temporário.

Eggulu n’ensi biriggwaawo naye ebigambo byange tebiriggwaawo."

"Amangu ddala ng’okubonyaabonyezebwa

"kw’omu nnaku ezo kuwedde,

enjuba eriggyako ekizikiza

era n’omwezi teguliyaka,

n’emmunyeenye zirigwa n’amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa.’ "

Olunaku n’Essaawa Tebimanyiddwa

"Naye eby’olunaku olwo wadde essaawa tewali n’omu abimanyi, newaakubadde bamalayika ab’omu ggulu nabo tebakimanyi, wadde Omwana, okuggyako Kitaffe yekka.

Tewali Amanyi Lunaku wadde Ekiseera

"Naye eby’olunaku olwo oba essaawa tewali n’omu abimanyi, newaakubadde bamalayika mu ggulu wadde Omwana, okuggyako Kitaffe.

O dia do Senhor

O dia do Senhor virá como ladrão. Os céus passarão com grande estrondo, e os elementos se dissolverão no fogo.

Naye olunaku lwa Mukama waffe lulijja ng’omubbi bw’ajja nga tewali n’omu amanyi; eggulu lirivaawo nga liwuuma nnyo, n’ebiririko birizikirizibwa n’omuliro, era ensi n’ebintu ebigirimu birisirikka.

Era olw’ekigambo ekyo, eggulu n’ensi ebiriwo kaakano bikuumibwa nga birindiridde okwokebwa omuliro ku lunaku olw’okusalirako omusango, n’okuzikirizibwa kw’abo abatatya Katonda.

Kale obanga ebintu byonna bya kuzikirizibwa, mugwanidde kubeeranga bantu ba mpisa ntukuvu era abatya Katonda, nga mulindirira era nga mwegomba nnyo olunaku lwa Katonda okutuuka, olunaku obwengula bwonna bwe buryokebwa ne buzikirizirwa n’ebiburimu ne bisaanuuka ne bisirikka.

Naye ku bikwata ku by’entuuko n’ebiro, abooluganda, ssetaaga kwongera kubawandiikira. Kubanga mmwe mwennyini mumanyi bulungi nti olunaku lwa Mukama waffe lulijja ng’omubbi bw’ajja ekiro. Abantu balirowooza mu mitima gyabwe nti, "Tulina emirembe era tulina obukuumi," amangwango okuzikirira ne kulyoka kubajjira, ng’okulumwa bwe kujjira omukazi agenda okuzaala omwana; ne batawona n’akatono.

Naye mmwe, abooluganda abaagalwa temuli mu kizikiza ku nsonga zino, era temugenda kwekanga lunaku olwo ng’abayingiriddwa omubbi; Kubanga mmwe mwenna muli baana ba musana era baana ba butangaavu. Tetuli ba kiro yadde ab’ekizikiza.

Naye mmwe, abooluganda abaagalwa temuli mu kizikiza ku nsonga zino, era temugenda kwekanga lunaku olwo ng’abayingiriddwa omubbi; Kubanga mmwe mwenna muli baana ba musana era baana ba butangaavu. Tetuli ba kiro yadde ab’ekizikiza. Noolwekyo tuleme kwebaka ng’abalala naye tutunulenga okwegomba kuleme okutufuga. Kubanga abeebaka beebaka kiro, n’abatamiira batamiira kiro. Naye ffe, kubanga tuli ba musana, tulemenga okutamiira. Twambale okukkiriza n’okwagala ng’ekyomu kifuba, era tube n’essuubi ery’obulokozi nga ye nkufiira yaffe. Kubanga ffe Katonda teyatulondera kufukibwako kiruyi kya busungu, wabula okutulokola ng’ayita mu Mukama waffe Yesu Kristo,

Destruição e renovação

O Dia do Senhor trará juízo sobre os ímpios, mas também novos céus e nova terra onde habita a justiça.

Olunaku lwa Mukama Olukulu

Olunaku lwa Mukama olukulu luli kumpi;

ddala lunaatera okutuuka.

Wuliriza! Omulwanyi alikaabira eyo ng’aliko obuyinike bungi,

n’okukaaba ku lunaku lwa Mukama kujja kuba kungi nnyo.

Olunaku olwo lunaku lwa busungu,

lunaku lwa buyinike n’okulaba ennaku,

lunaku lwa mutawaana n’okuzikirira,

olunaku olw’ekikome n’ekizikiza,

olunaku lw’ebire n’ekizikiza ekikutte ennyo;

olunaku olw’okufuuwa ekkondeere n’okulangirira olutalo

ku bibuga ebiriko ebigo

n’eri eminaala emigulumivu.

Ndireeta, obuyinike ku bantu,

batambule ng’abazibe b’amaaso,

kubanga bakoze ebibi mu maaso ga Mukama,

omusaayi gwabwe guliyiyibwa ng’enfuufu,

n’ebyenda byabwe bivundire kungulu.

Effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe

tebiriyinza kubataasa

ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama.

Ensi yonna erizikirizibwa

omuliro gw’obuggya bwe,

era alimalirawo ddala

abo bonna abali mu nsi.

Laba olunaku lwa Mukama lujja,

olunaku olubi ennyo olw’ekiruyi n’obusungu obubuubuuka

okufuula ensi amatongo,

n’okuzikiriza abakozi b’ebibi okubamalamu.

Awo ne ndaba ng’abembulula akabonero k’envumbo ak’omukaaga; ne wabaawo musisi ow’amaanyi ennyo, era enjuba n’eddugala n’efuuka nzirugavu ng’ekibukutu ekyakolebwa mu bwoya, n’omwezi gwonna ne gumyuka ng’omusaayi. Awo emmunyeenye ez’omu ggulu ne zigwa ku nsi ng’omutiini bwe gukunkumula emitiini egitanayengera olwa kibuyaga ow’amaanyi,

Ogusota ogwo ogw’amaanyi, era gwe gusota ogw’edda oguyitibwa Setaani Omulimba, alimba ensi yonna, ne gusuulibwa wansi ku nsi n’eggye lyagwo lyonna.

Okujja kw’Omwana w’Omuntu

"Walibaawo obubonero ku njuba, ne ku mwezi, ne ku mmunyeenye. Wano ku nsi amawanga galibeera mu kunyolwa, olw’abamawanga, ng’abantu basamaaliridde olw’ennyanja eziyira n’amayengo ageesiikuula. Abantu baliggwaamu amaanyi ne bazirika nga batidde nnyo olw’ebirijja ku nsi; kubanga amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa.

Mutunule nga musaba Katonda buli kiseera, abawe amaanyi okubasobozesa okuwona ebintu ebyo byonna, Omwana w’Omuntu bw’alijja mulyoke musobole okuyimirira mu maaso ge."

Yerusaalemi Ekiggya

Awo ne ndaba eggulu eriggya n’ensi empya. Eggulu eryasooka n’ensi eyasooka byali biweddewo nga n’ennyanja tekyaliwo. Ne ndaba ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva ewa Katonda mu ggulu, nga kiri ng’omugole bw’abeera ku mbaga ey’obugole bwe, ng’ayonjereddwa bbaawe. Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka nga lyogera okuva mu ntebe ey’obwakabaka nti, "Laba eyeekaalu ya Katonda kaakano eri mu bantu, anaabeeranga nabo era banaabeeranga bantu be, Katonda yennyini anaaberanga nabo, era anaabeeranga Katonda waabwe. Alisangula amaziga mu maaso gaabwe, olwo nga tewakyali kufa, wadde ennaku, wadde okukaaba, wadde okulumwa kubanga byonna ebyasooka nga biweddewo."

Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka n’agamba nti, "Laba, ebintu byonna mbizzizza buggya." Era n’aŋŋamba nti, "Wandiika bino, kubanga bigambo bya bwesigwa era bya mazima!"

Seja o primeiro
Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-29_22-07-56-