Livramento
Deus é o grande Libertador. Através da Bíblia, vemos Deus livrando seu povo de inimigos, de perigos e da morte. Quem clama ao Senhor, Ele ouve e liberta.
Deus ouve e livra
Clamaram ao Senhor na sua tribulação, e Ele os livrou das suas angústias. O Senhor é refúgio e a salvação dos que nele confiam.
Abatuukirivu bakoowoola Mukama n’abawulira
n’abawonya mu byonna ebiba bibateganya.
Anankowoolanga ne muyitabanga;
nnaabeeranga naye mu biseera eby’akabi.
Ndimuwonya era ndimuwa ekitiibwa.
Nnaayogeranga ku Mukama nti, Oli kiddukiro kyange era ekigo kyange;
ggwe Katonda wange gwe nneesiga.
Ddala ddala y’anaakuwonyanga omutego gw’omuyizzi,
ne kawumpuli azikiriza.
Katonda waffe ye Katonda alokola;
era tuddukira eri Mukama Katonda okuwona okufa.
Kubanga emmeeme yange ogiwonyezza okufa.
Ebigere byange tobiwonyezza okwesittala;
ne ndyoka ntambulira mu maaso ga Katonda
mu musana nga ndi mulamu?
Mulwanirire abatalina maanyi n’abali mu kwetaaga, mubawonye;
mubanunule nga mubaggya mu mikono gy’ababi.
Onsasire ayi Mukama ondokole;
Ayi Mukama, oyanguwe okumbeera.
Noolwekyo abaweereza bo bonna abeesigwa
bakwegayirire ng’okyalabika;
oluvannyuma ebizibu bwe birijja,
ng’amazzi ag’amaanyi amangi tebiribatuukako.
Livramento poderoso
Deus livrou Daniel dos leões, os jovens hebreus do fogo e Israel do Egito. Seu braço não é curto para salvar.
Bwe tunaasuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro, Katonda gwe tuweereza anaatuwonya ekikoomi ekyaka omuliro era anaatulokola mu mukono gwo, ayi kabaka. Naye ne bwe kitaabe bwe kityo, twagala okimanye, ayi kabaka nga tetugenda kuweereza bakatonda bo, newaakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye wabumbisa."
Yamponya abalabe bange ab’amaanyi abankyawa,
abo abaali bansinza amaanyi.
Naye baayimirira wakati mu nnimiro ne bagirwanirira, era ne batta Abafirisuuti, nga Mukama y’abawadde obuwanguzi.
Bwe munaabajooganga ne bankaabira, nnaabawulirizanga.
"Weewaawo, okuva mu nnaku ez’edda Nze Nzuuyo;
tewali n’omu ayinza okuwonya omuntu mu mukono gwange.
Kye nkola ani ayinza okukikyusa?"
Redenção e restauração
Todo aquele que invocar o nome do Senhor será salvo. Deus livra do pecado, da morte e de todo mal aqueles que se humilham diante dele.
Buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokoka.
Kaakano olinda ki? Situka obatizibwe onaazibweko ebibi byo nga bw’oyatudde erinnya lye.’
era ne bwe mulindiridde Omwana wa Katonda, okukomawo okuva mu ggulu, gwe yazuukiza okuva mu bafu, ye Yesu oyo yekka atulokola okutuwonya mu busungu bwa Katonda obugenda okujja.
abantu bange abatuumiddwa erinnya lyange bwe baneetowazanga, ne basaba, ne banoonya amaaso gange, ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amakyamu, kale nnaawuliranga nga nsinziira mu ggulu ne nsonyiwa ekibi kyabwe era ne mponya ensi yaabwe.
Era buli kye munaasabanga mu linnya Lyange nnaakibakoleranga, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana. Bwe munaasabanga ekintu kyonna mu linnya lyange nnaakikolanga."
Okusuubizibwa Mwoyo Mutukuvu
"Kale obanga munjagala mugonderenga ebiragiro byange, nange ndisaba Kitange n’abawa Omubeezi omulala anaabeeranga nammwe emirembe n’emirembe,
Tumanyi nti Katonda tawulira balina bibi, naye awulira abo abamutya era abakola by’ayagala.
Musemberere Katonda, ne Katonda anaabasembereranga. Mulongoose engalo zammwe, mmwe abakozi b’ebibi, mutukuze emitima gyammwe, mmwe abalina emyoyo egitaaganaaga.
Obanga mmwe abantu ababi musobola okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisingawo okubawa ebirungi bye mumusaba?
Omuntu asaba Katonda, Katonda n’amukwatirwa ekisa.
Alaba amaaso ga Katonda n’ajaguza n’essanyu,
Katonda n’amuddiza nate ekifo kye eky’obutuukirivu.
Este artigo te tocou? Faça uma oração!
+581 estão orando agora.
Junte-se à corrente de oração.