Sinais do fim dos tempos
A Bíblia descreve sinais que precederão a volta de Jesus. Guerras, falsos mestres, sinais cósmicos e a pregação do evangelho a todas as nações — tudo aponta para o fim dos tempos.
Sinais proféticos
Este evangelho do Reino será pregado em todo o mundo e então virá o fim. Os sinais dos últimos tempos já se manifestam.
Era Enjiri ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi yonna, nga bwe bujulirwa eri amawanga gonna n’oluvannyuma enkomerero n’eryoka etuuka."
"Amangu ddala ng’okubonyaabonyezebwa
"kw’omu nnaku ezo kuwedde,
‘enjuba eriggyako ekizikiza
era n’omwezi teguliyaka,
n’emmunyeenye zirigwa n’amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa.’ "
"Oluvannyuma lw’ebyo akabonero k’Omwana w’omuntu kalirabika ku ggulu, era walibaawo okukungubaga kw’amawanga gonna ag’omu nsi, era baliraba Omwana w’Omuntu ng’ajja ku bire by’eggulu, mu maanyi ne mu kitiibwa ekinene. Era alituma bamalayika be nga bwe bafuuwa amakondeere mu ddoboozi ery’omwanguka, ne bakuŋŋaanya abalonde be nga babaggya mu mpewo ennya okuva ku ludda olumu olw’eggulu okutuuka ku ludda olulala."
"Noolwekyo mubeere beetegefu, kubanga olunaku Mukama wammwe lw’aliddirako temulumanyi. Naye mutegeere kino: ssinga ssemaka amanya essaawa omubbi w’anaayingirira okumenya ennyumba ye, yandisigadde ng’atunula, n’ataganya mubbi kumuyingirira. Noolwekyo nammwe bwe mutyo mweteeketeeke, kubanga Omwana w’omuntu alijjira mu kiseera kye mutamulowoolezaamu."
Era mubayigirize okugonderanga byonna bye nabalagira mmwe, era Ndi nammwe bulijjo n’okutuukira ddala ensi lw’eriggwaawo."
"Naye eby’olunaku olwo oba essaawa tewali n’omu abimanyi, newaakubadde bamalayika mu ggulu wadde Omwana, okuggyako Kitaffe.
Os últimos dias
Nos últimos dias virão tempos difíceis, homens amantes de si mesmos. Mas derramarei o meu Espírito sobre toda a carne.
Naye tegeera kino nga mu nnaku ez’oluvannyuma walibaawo ebiseera ebizibu. Kubanga abantu baliba nga beefaako bokka, nga balulunkanira ensimbi, nga beepanka, nga beekuluntaza, nga boogera ebibi, era nga tebawulira bazadde baabwe, nga tebeebaza, nga tebatya Katonda, nga tebaagalana era nga tebatabagana, nga bawaayiriza, nga tebeegendereza, nga bakambwe, nga tebaagala birungi, nga ba nkwe, nga baagala eby’amasanyu okusinga bwe baagala Katonda; nga balina ekifaananyi eky’okutya Katonda so nga tebakkiriza maanyi gaakyo. Abantu ab’engeri eyo obeewalanga.
" ‘Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma,
bw’ayogera Katonda,
ndifuka Omwoyo wange ku balina omubiri bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe baliwa obunnabbi;
n’abavubuka bammwe balyolesebwa,
n’abakadde baliroota ebirooto.
Mu biro ebyo ndifuka Omwoyo wange,
ku baweereza bange abasajja n’abakazi;
baliwa obunnabbi.
Era ndikola ebyamagero mu ggulu waggulu,
n’obubonero ku nsi wansi,
omusaayi n’omuliro n’ekikoomi eky’omukka.
Enjuba erifuuka ekizikiza,
n’omwezi gulimyuka ng’omusaayi,
olunaku lwa Mukama olukulu era olw’ekitiibwa nga terunnatuuka.
Na buli muntu alikoowoola erinnya lya Mukama,
alirokolebwa.’
"Awo olulituuka oluvannyuma lw’ebyo,
ndifuka Omwoyo wange ku bantu bonna.
Batabani bammwe ne bawala bammwe balitegeeza eby’omu maaso;
abakadde baliroota ebirooto,
n’abavubuka bammwe balyolesebwa.
Mu biro ebyo
ndifuka Omwoyo wange ku baweereza bange abasajja n’abakazi.
"Mu biro ebyo Mikayiri omulangira omukulu akuuma abantu bo aligolokoka, ne yeeyimirira abantu bo. Waliba ekiseera eky’okubonaaboneramu ekitabangawo okuva ku kutondebwa kw’amawanga. Naye mu biro ebyo, omuntu aliba awandiikiddwa mu kitabo, alirokolebwa. Bangi ku beebase mu nfuufu ey’ensi baligolokoka, abamu eri obulamu obutaggwaawo, n’abalala eri ensonyi n’okuswazibwa okutaggwaawo. Abo abalina okutegeera balyakaayakana ng’okumasamasa kw’omu bbanga; n’abo abakyusa abangi okudda eri obutuukirivu, balyakaayakana ng’emmunyeenye emirembe n’emirembe.
Esperança e prontidão
O dia do Senhor virá como ladrão. Mas nós não somos das trevas — estejamos sóbrios, vigiliando e esperando.
Kubanga ekyo kye tubategeeza mu kigambo kya Mukama waffe, nga ffe abalamu, abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama waffe tetulisooka abaafa. Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n’eddoboozi ery’omwanguka, eddoboozi lya malayika omukulu nga liwulirwa, n’ekkondeere lya Katonda, n’abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira, naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tubeegattako, ne tusitulibwa mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga; bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna. Kale buli omu agumyenga munne n’ebigambo ebyo.
Noolwekyo tuleme kwebaka ng’abalala naye tutunulenga okwegomba kuleme okutufuga. Kubanga abeebaka beebaka kiro, n’abatamiira batamiira kiro. Naye ffe, kubanga tuli ba musana, tulemenga okutamiira. Twambale okukkiriza n’okwagala ng’ekyomu kifuba, era tube n’essuubi ery’obulokozi nga ye nkufiira yaffe. Kubanga ffe Katonda teyatulondera kufukibwako kiruyi kya busungu, wabula okutulokola ng’ayita mu Mukama waffe Yesu Kristo,
"Mwekuume muleme okwemalira mu binyumu n’okutamiira, n’okweraliikirira eby’obulamu, okujja kwange okw’amangu kuleme kubakwasa nga temugenderedde ng’abagudde mu mutego. Kubanga olunaku olwo lulituuka ku buli muntu mu nsi yonna. Mutunule nga musaba Katonda buli kiseera, abawe amaanyi okubasobozesa okuwona ebintu ebyo byonna, Omwana w’Omuntu bw’alijja mulyoke musobole okuyimirira mu maaso ge."
Naye, abooluganda, temusaana, kwerabira nti mu maaso ga Mukama emyaka olukumi giri ng’olunaku olumu, era n’olunaku olumu luli ng’emyaka olukumi. Mukama waffe taludde kutuukiriza ekyo kye yasuubiza ng’abamu bwe balowooza. Wabula ye akyabagumiikiriza, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna beenenye.
Naye olunaku lwa Mukama waffe lulijja ng’omubbi bw’ajja nga tewali n’omu amanyi; eggulu lirivaawo nga liwuuma nnyo, n’ebiririko birizikirizibwa n’omuliro, era ensi n’ebintu ebigirimu birisirikka.
Kale obanga ebintu byonna bya kuzikirizibwa, mugwanidde kubeeranga bantu ba mpisa ntukuvu era abatya Katonda, nga mulindirira era nga mwegomba nnyo olunaku lwa Katonda okutuuka, olunaku obwengula bwonna bwe buryokebwa ne buzikirizirwa n’ebiburimu ne bisaanuuka ne bisirikka. Naye nga Katonda bwe yatusuubiza, tulindirira obwengula obuggya n’ensi empya omuli obutuukirivu.
Naye leka mbabuulire ekyama: Si ffenna abalifa, naye eŋŋombe ey’enkomerero bw’erivuga ffenna tulifuusibwa mu kaseera katono ng’okutemya kikowe. Kubanga eŋŋombe erivuga, n’abafu balizuukizibwa, nga tebakyaddayo kufa era ffenna tulifuusibwa.
"Laba nditonda eggulu eriggya
n’ensi empya.
Ebintu eby’edda tebijja kujjukirwa
wadde okulowoozebwako mu mutima.
Naye musanyukire ekyo kye ntonda
mujaguze emirembe n’emirembe,
kubanga nditonda Yerusaalemi okuba essanyu
n’abantu baamu okuba okujaguza.
Ndijaguza olwa Yerusaalemi
era nsanyukire abantu bange;
amaloboozi ag’okukaaba
tegaliddayo kuwulirwamu.
"Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng’ekikoomi, n’ab’amalala bonna n’abo bonna abakola ebibi baliba bisasiro: ku lunaku lwennyini balyokerwa ddala," bw’ayogera Mukama ow’Eggye, "obutabalekerawo mulandira newaakubadde ettabi. Naye mmwe abatya erinnya lyange, enjuba ey’obutuukirivu eribaviirayo ng’erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo. Mulifuluma ne muligita ng’ennyana ez’omu kiraalo.
Awo ne ndaba eggulu eriggya n’ensi empya. Eggulu eryasooka n’ensi eyasooka byali biweddewo nga n’ennyanja tekyaliwo. Ne ndaba ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva ewa Katonda mu ggulu, nga kiri ng’omugole bw’abeera ku mbaga ey’obugole bwe, ng’ayonjereddwa bbaawe. Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka nga lyogera okuva mu ntebe ey’obwakabaka nti, "Laba eyeekaalu ya Katonda kaakano eri mu bantu, anaabeeranga nabo era banaabeeranga bantu be, Katonda yennyini anaaberanga nabo, era anaabeeranga Katonda waabwe. Alisangula amaziga mu maaso gaabwe, olwo nga tewakyali kufa, wadde ennaku, wadde okukaaba, wadde okulumwa kubanga byonna ebyasooka nga biweddewo."