Publicidade

Generosidade

Por Bíblia Online

A generosidade é marca do caráter de Deus e vocação do cristão. Deus ama ao que dá com alegria. Quem semeia generosamente, generosamente colherá.

Dar com alegria

Deus ama ao que dá com alegria. Cada um contribua segundo propôs no coração — não com tristeza ou por necessidade.

Buli omu akola nga bw’asazeewo mu mutima gwe, si lwa nnaku, newaakubadde olw’okuwalirizibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.

Naye mujjukire nti, "Asiga ekitono alikungula kitono, naye asiga ekinene alikungula kinene." Buli omu akola nga bw’asazeewo mu mutima gwe, si lwa nnaku, newaakubadde olw’okuwalirizibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu. Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli, bulijjo mubeerenga n’ebibamala byonna mu buli kintu nga musukkirira mu mulimu gwonna omulungi, nga bwe kyawandiikibwa nti,

"Yasaasaanya, yagabira abaavu.

Obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna."

Kubanga oyo awa omulimi ensigo okusiga, ate n’amuwa n’emmere ey’okulya, anaayazanga ensigo yammwe era n’agyongerako, era anaayongeranga ebibala eby’obutuukirivu. Anaabagaggawazanga mu buli kintu, ekyebazisa Katonda mu ffe.

Kubanga omulimu gw’obuweereza buno tegukoma ku kuyamba batukuvu abali mu kwetaaga kyokka, kusukkirira mu kwebaza okungi eri Katonda.

Kubanga oyo awa omulimi ensigo okusiga, ate n’amuwa n’emmere ey’okulya, anaayazanga ensigo yammwe era n’agyongerako, era anaayongeranga ebibala eby’obutuukirivu.

Anaabagaggawazanga mu buli kintu, ekyebazisa Katonda mu ffe.

Kuba obanga mulina obumalirivu nga buli muntu bw’alina, buli muntu aweeyo okusinziira ku ekyo ky’alina so si ky’atalina.

Partilhar e abençoar

Quem dá aos pobres empresta ao Senhor. A generosidade abre portas de bênção sobre quem dá e sobre quem recebe.

Omuntu agaba anagaggawalanga,

n’oyo ayamba talibulako amuyamba.

Omuntu Omugabi

Omuntu agaba obuteerekereza, yeeyongera bweyongezi kugaggawala;

naye akwatirira kye yandigabye, yeeyongera kwavuwala.

Omuntu agaba anagaggawalanga,

n’oyo ayamba talibulako amuyamba.

Amagezi n’Obugagga

Mukama mugulumizenga n’ebyobugagga byo; n’ebibala ebisooka eby’ebintu byo byonna eby’omu nnimiro yo,

olwo amaterekero go lwe ganajjulanga ebintu enkumu,

era n’amasenero go ne gajjula ne gabooga omwenge omusu.

Tommanga birungi abo be bisaanira

bwe kibeera mu buyinza bwo okukikola.

Oyo aziba amatu ge eri okulaajana kw’omwavu,

naye alikoowoola nga talina amwanukula.

Muleete ekimu eky’ekkumi ekijjuvu mu nnyumba yange, ennyumba yange ebeeremu emmere, era mungezese," bw’ayogera Mukama ow’Eggye, "obanga siribaggulirawo ebituli eby’omu ggulu, ne mbawa omukisa ne gutabaako ne we guligya.

Olwokubanga mu nsi temuubulengamu baavu abali mu kwetaaga, kyenva nkulagira nti muganda wo omwavu era ali mu kwetaaga omwanjululizanga engalo zo bulijjo mu nsi yo.

O ensino de Jesus

Dai e dar-se-vos-á. A quem te pedir, dá. O que fizestes a um destes mais pequeninos, a mim o fizestes.

Mugabenga nammwe muliweebwa. Ekigera ekirungi ekikattiddwa, ekisuukundiddwa, eky’omuyiika kiribakwasibwa. Kubanga ekigera kye mugereramu nammwe mwe muligererwa."

Mugabenga nammwe muliweebwa. Ekigera ekirungi ekikattiddwa, ekisuukundiddwa, eky’omuyiika kiribakwasibwa. Kubanga ekigera kye mugereramu nammwe mwe muligererwa."

Omuntu yenna akusabanga omuwanga; era n’oyo akuggyangako ebintu byo tobimusabanga kubikuddizza.

Kale obanga mmwe ababi muwa abaana bammwe ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa Mwoyo Mutukuvu abo abamusaba?"

Akusaba omuwanga, n’oyo ayagala okukwewolako tomukubanga mabega."

"Bw’obanga ogabira omwavu ekintu teweeraganga nga bannanfuusi bwe bakola ne basooka okufuuwa eŋŋombe mu makuŋŋaaniro ne mu nguudo, nga bagenda okugabira abaavu, abantu babalabe babawe ekitiibwa. Ddala ddala mbagamba nti Abo, eyo y’empeera yaabwe. Naye ggwe bw’obanga ogabira omuntu yenna ekintu omukono gwo ogwa kkono guleme kumanya ogwa ddyo kye gukola. Kale Kitaawo amanyi ebyama byonna alikuwa empeera."

"Kabaka, alibaddamu nti, Ddala ddala mbagamba nti bwe mwabikolera baganda bange bano abasembayo wansi kye kimu mwabikolera nze!

Generosidade de Deus

Se Deus dá sabedoria generosamente a quem pede, quanto mais nos dará Ele forças e suprimento em toda necessidade?

Naye obanga omuntu yenna ku mmwe aweebuka mu magezi, asabenga Katonda agabira bonna atakayuka, galimuweebwa.

Singa muganda wo oba mwannyoko takyalina kyakwambala wadde ekyokulya, naye omu ku mmwe n’amugamba nti, "Genda mirembe, obugume, era olye bulungi", naye nga tamuwaddeeyo byetaago bya mubiri, olwo kimugasa ki? Noolwekyo n’okukkiriza bwe kutyo; bwe kutabaako bikolwa kuba kufu.

Awa amaanyi abazirika,

n’oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi.

Omuntu oyo agabira abeetaaga, era tawolera magoba,

era akola emirimu gye gyonna n’obwenkanya, alifuna ebirungi.

Seja o primeiro
Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-29_22-07-56-