Publicidade

Guardar o coração

Por Bíblia Online

Guardar o coração é o mandamento mais urgente de Provérbios. Sobre tudo o que se deve guardar, guarda o teu coração, porque dele procedem as fontes da vida.

Sobre tudo, guarda o coração

O coração é a nascente de tudo — pensamentos, desejos, decisões. Guardá-lo é proteger toda a vida espiritual e emocional.

Ekisinga byonna kuuma omutima gwo,

kubanga y’ensulo y’obulamu bwo.

Mwana wange mpa omutima gwo,

n’amaaso go geekalirize amakubo gange,

Emikisa Egiva mu kuba n’Amagezi

Mwana wange, teweerabiranga bintu bye nakuyigiriza,

era okuumanga ebiragiro byange mu mutima gwo,

kubanga bijja kuwangaaza obulamu bwo ku nsi,

era bikukulaakulanye.

Omuntu omulungi afulumya ebirungi okuva mu mutima gwe omulungi, n’omuntu omubi afulumya ebibi okuva mu mutima gwe omubi. Kubanga akamwa koogera ku biba bijjudde mu mutima."

Coração puro e renovado

Cria em mim um coração puro, ó Deus. Os puros de coração verão a Deus — e o Espírito renova nosso interior.

Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda,

era onteekemu omwoyo omulungi munda yange.

Balina omukisa abalina omutima omulongoofu,

kubanga abo baliraba Katonda.

Nkebera, Ayi Katonda, otegeere omutima gwange.

Ngezesa omanye ebirowoozo byange.

Olabe obanga mu nze mulimu engeri yonna enkyamu;

era onkulembere mu kkubo erintuusa mu bulamu obutaggwaawo.

Neetegereza, Ayi Mukama, ongezese;

weekalirize ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange.

Kubanga okwagala kwo kwe kunkulembera,

era mu mazima go mwe ntambulira.

Weekenneenyezza omutima gwange era n’onkebera n’ekiro.

Ne bw’onongezesa toobeeko kibi ky’onsangamu;

kubanga mmaliridde obutayogeranga bya bulimba.

Ggwe, gwe nkoowoola,

ngoberedde ebigambo by’akamwa ko,

ne neewala

ebikolwa by’abantu abakambwe.

Nnyweredde mu makubo go,

era ebigere byange tebiigalekenga.

Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda,

omutima gwange munywevu.

Nnaakutenderezanga n’ennyimba.

Guardar com a Palavra

Não vos conformeis com este mundo. A Palavra de Deus guardada no coração nos protege do pecado e nos direciona.

So temwefaananyirizanga ba mirembe gino, naye mukyusibwe olw’okudda obuggya mu birowoozo byammwe okukakasibwa okusiimibwa kwa Katonda, okusanyusa era okw’amazima.

Ekitabo kino eky’amateeka tekikuvanga mu kamwa, okifumiitirizangako emisana n’ekiro olyoke oteekenga mu nkola ebyo bye kikulagira era bw’otyo bw’oneefunira obuwanguzi n’okukulaakulana.

Nkunoonya n’omutima gwange gwonna;

tonzikiriza kuva ku mateeka go.

Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange;

ndyoke nneme okwonoona.

Oyagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’omwoyo gwo gwonna, n’amaanyi go gonna. Amateeka gano ge nkuwa leero ogakwatanga ku mutima gwo.

n’abagamba nti, "Mukwate ku mutima gwammwe ebigambo byonna bye mbategeezezza leero n’obuwombeefu obungi, mulyoke mulagire abaana bammwe bagonderenga n’obwegendereza ebigambo byonna eby’amateeka gano.

Vigilância e paz

A paz de Deus guarda nossos corações em Cristo Jesus. Chegai-vos a Deus, purificai os corações — e Ele estará convosco.

Temweraliikiriranga kintu na kimu, wabula mu buli kintu mu kusabanga ne mu kwegayiriranga awamu n’okwebazanga, mutegeezenga Katonda bye mwetaaga. N’emirembe gya Katonda, egisukkiridde okutegeera kwammwe ginaabakuumanga amagezi gammwe n’emitima gyammwe mu Kristo Yesu.

Musemberere Katonda, ne Katonda anaabasembereranga. Mulongoose engalo zammwe, mmwe abakozi b’ebibi, mutukuze emitima gyammwe, mmwe abalina emyoyo egitaaganaaga.

Mugumiikirize, era mugume omwoyo, kubanga amadda ga Mukama waffe gali kumpi.

Ebiragiro ku Butukuvu

Nga bwe mwazuukirira awamu ne Kristo, munoonyenga ebintu ebiri mu ggulu, Kristo gy’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.

Seja o primeiro
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-07-05_19-25-13-