Publicidade

Ídolos

Por Bíblia Online

A Bíblia condena a idolatria com veemência. Um ídolo é qualquer coisa que ocupa o lugar de Deus no coração. Os cristãos são chamados a guardar-se dos ídolos e servir ao Deus vivo.

Guardai-vos dos ídolos

Filhinhos, guardai-vos dos ídolos. A cobiça é idolatria. Tudo que ocupa o trono de Deus no coração é um ídolo.

Abaana abaagalwa, mwewalenga bakatonda abalala.

Noolwekyo temufugibwa bikolwa byammwe eby’omubiri, byonna mubitte. Gamba nga: obwenzi, n’obutali bulongoofu, n’obukaba, n’okwegomba okw’ensonyi, n’okuyaayaana; kye kimu n’okusinza bakatonda abalala.

Kubanga okululunkanira ensimbi y’ensibuko y’ebibi byonna, era olw’okululunkana okwo abamu bawabye, ne bava mu kukkiriza, ne beereetera obulumi bungi mu mitima gyabwe.

Temwekoleranga bakatonda balala wendi; temwekoleranga bakatonda ba ffeeza oba bakatonda ba zaabu.

"Nze Mukama Katonda wo

eyakuggya mu nsi ya Misiri;

so tolimanya Katonda mulala wabula nze,

so tewali mulokozi wabula nze.

O único Deus verdadeiro

O Senhor é Deus nos céus e na terra — não há outro. Escolham hoje a quem servir, mas eu e a minha casa serviremos ao Senhor.

"Noolwekyo osaana okitegeerere ddala okuva ku lunaku lwa leero, era okinywereze ddala mu mutima gwo nti Mukama ye Katonda yekka ali waggulu mu ggulu ne wansi ku nsi; so tewali mulala.

Mukama Katonda wammwe gwe munaagobereranga, era ye yekka gwe munaatyanga, era amateeka ge, ge munaakwatanga, era n’eddoboozi lye, lye munaawulirizanga era lye munaagonderanga, era ku ye kwe munaanywereranga.

Naye bwe muba temwagala kuweereza Mukama, mulondeewo leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda babajjajjammwe abaali emitala w’omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab’Abamoli, bannannyini nsi mwe muli. Naye nze n’ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama Katonda."

Oba temumanyi ng’abatali batuukirivu tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga. Abakaba, newaakubadde abasinza bakatonda abalala, newaakubadde abenzi, newaakubadde abasajja abeeyisa ng’abakazi, newaakubadde abalya ebisiyaga, newaakubadde ababbi, newaakubadde aboomululu, newaakubadde abatamiivu, newaakubadde abajerega, newaakubadde abanyazi tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda.

Vencer a idolatria

Não tenhas comunhão com as obras das trevas. Revesti-vos da armadura de Deus para resistir às ciladas do diabo.

Temwenyigiranga mu bikolwa bya kizikiza kubanga tebigasa, wabula munenyenga ababikola. Kubanga kya nsonyi n’okubyogerako ebyo abajeemu bye bakolera mu kyama.

Mwambale ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwolekera enkwe za Setaani.

Sikusaba kubaggya mu nsi, naye nkusaba obakuume eri omubi.

Naye teri kyakulwanyisa kye baliweesa ekirikwolekera ne kikusobola,

era oliwangula buli lulimi olulikuvunaana era oluwoza naawe.

Guno gwe mugabo gw’abaddu ba Mukama,

n’obutuukirivu bwabwe obuva gye ndi,"

bw’ayogera Mukama.

Towangulwanga kibi, naye wangulanga ekibi ng’okola obulungi.

Lekeraawo okukola ebibi, okolenga ebirungi;

noonya emirembe era ogigobererenga.

Obuyinza obulumya buva mu kibi, n’amaanyi g’ekibi gava mu mateeka.

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-22_10-02-25-