Intimidade com Deus
A intimidade com Deus é o maior privilégio do cristão. Ele nos convida a nos aproximar, a conhecê-lo profundamente e a desfrutar de comunhão diária com o Criador do universo.
Aproximar-se de Deus
Chegai-vos a Deus e Ele se chegará a vós. Deus deseja intimidade, não religiosidade. Ele busca os que o buscam de todo coração.
Musemberere Katonda, ne Katonda anaabasembereranga. Mulongoose engalo zammwe, mmwe abakozi b’ebibi, mutukuze emitima gyammwe, mmwe abalina emyoyo egitaaganaaga.
"Kale mujje,
mmwe mwenna abalumwa ennyonta, mujje eri amazzi.
Mujje mmwe abatalina ssente zigula,
mujje muweebwe bye mwagala,
envinnyo oba amata ebitali bya kugula
ebitaliiko miwendo gya kusasula.
Lwaki musaasaanya ensimbi zammwe ku ebyo ebitali bya kulya
muteganira ebyo ebitakkusa?
Mumpulirize, mumpulirize n’obwegendereza mulye ebyo ebirungi,
emmeeme yammwe eneesanyuka nnyo.
Mumpulirize mujje gye ndi.
Muwulirize mubeere balamu;
nnaabakolera endagaano ey’olubeerera,
era egyo gy’emikisa gyange n’okwagala bye nasuubiza Dawudi.
Laba namufuula omujulirwa eri abantu,
omukulembeze era omugabe w’abantu.
Laba oliyita amawanga g’otomanyi,
era amawanga g’otomanyi galyanguwa okujja gy’oli.
Kiribaawo olw’obuyinza bwa Mukama Katonda wo
era Omutukuvu wa Isirayiri
kubanga akugulumizza."
Munoonye Mukama nga bw’akyayinzika okulabika,
mumukaabirire nga bw’akyali okumpi.
Nga tebanakoowoola ndibaddamu,
nga bakyayogera bati mbaddemu.
‘Mumpite n’abayitaba ne mbalaga ebikulu ebitanoonyezeka bye mutamanyi.’
Kubanga mmanyi enteekateeka ze nnina gye muli, enteekateeka ez’okubakulaakulanya so si okubakolako akabi, enteekateeka ez’okubawa essuubi era n’obulamu obw’omu maaso," bw’ayogera Mukama.
Sede de Deus
Como a corça deseja as correntes de água, assim a minha alma suspira por ti, ó Deus. A intimidade nasce do desejo profundo.
Ng’empeewo bw’ewejjawejja olw’amazzi,
n’emmeeme yange bw’etyo bwe wejjawejja ku lulwo, Ayi Katonda.
Emmeeme yange eyaayaanira Katonda, Katonda omulamu.
Ndigenda ddi ne nsisinkana Katonda?
Ayi Katonda, oli Katonda wange,
nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
emmeeme yange ekwetaaga,
omubiri gwange gwonna gukuyaayaanira,
nga nnina ennyonta ng’ali
mu nsi enkalu omutali mazzi.
Nkulabye ng’oli mu kifo kyo ekitukuvu,
ne ndaba amaanyi go n’ekitiibwa kyo.
Kubanga okwagala kwo okutaggwaawo kusinga obulamu;
akamwa kange kanaakutenderezanga.
Bwe ntyo nnaakutenderezanga obulamu bwange bwonna;
nnaayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.
Emmeeme yange enekkutanga ebyassava n’obugagga;
nnaayimbanga nga nkutendereza n’emimwa egy’essanyu.
Nkujjukira nga ndi ku kitanda kyange,
era nkufumiitirizaako mu ssaawa ez’ekiro.
Olw’okuba ng’oli mubeezi wange,
nnyimba nga ndi mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.
Emmeeme yange yeekwata ku ggwe;
omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira.
Naye abo abannoonya okunzita balizikirizibwa,
baliserengeta emagombe.
Balisaanawo n’ekitala;
ne bafuuka emmere y’ebibe.
Naye ye kabaka anaajagulizanga mu Katonda;
bonna abalayira mu linnya lya Katonda banaatenderezanga Katonda,
naye akamwa k’abalimba kalisirisibwa.
Unidade com o Pai
Jesus orou pela unidade dos seus com o Pai. A intimidade com Deus inclui confissão, perdão e alegria na comunhão.
Mbawadde ekitiibwa kye wampa, balyoke babeere bumu nga ffe bwe tuli obumu. Nze nga ndi mu bo, era naawe ng’oli mu Nze balyoke bafuukire ddala omuntu omu. Ensi eryoke etegeere nga ggwe wantuma era nti obaagala nga bw’onjagala."
Mukama Katonda ali naawe,
ow’amaanyi alokola:
alikusanyukira,
alikukkakkanyiza mu kwagala kwe,
alikusanyukira n’okuyimba."
Naye bwe twatula ebibi byaffe, ye mwesigwa era mutuukirivu okutusonyiwa n’okutunaazaako obutali butuukirivu bwonna.