Livro da vida
O Livro da Vida é o registro celestial dos nomes daqueles que pertencem a Deus. Estar escrito no Livro da Vida é a garantia da salvação eterna e da entrada na Nova Jerusalém.
Registrados no céu
Alegrai-vos por terem vossos nomes escritos nos céus. O Livro da Vida pertence ao Cordeiro de Deus desde a fundação do mundo.
Naye temusanyuka nnyo kubanga baddayimooni babagondera, wabula mujaguze nti amannya gammwe gawandiikiddwa mu ggulu."
Era ggwe mukozi munnange, nkusaba oyambenga abakazi abo, kubanga baakolera wamu nange omulimu gw’okubunyisa Enjiri. Abo awamu ne Kerementi, era ne bakozi bannange abalala, amannya gaabwe gawandiikiddwa mu kitabo ky’obulamu.
Era abantu bonna abaaliwo okuva ku kutondebwa kw’ensi, abatawandiikiddwa mu kitabo eky’Obulamu eky’Omwana gw’Endiga eyattibwa balisinza ekisolo ekyo.
Ekisolo kye walabye kyaliwo, naye kaakano tekikyaliwo era mu bbanga ttono kiriggyibwa mu bunnya obutakoma kiryoke kizikirizibwe. Abantu abali ku nsi amannya gaabwe nga tegawandiikiddwa mu kitabo eky’Obulamu okuva ensi lwe yatondebwa, balyewuunya okulaba ekisolo ekyaliwo, ne kitabeerawo, ate ne kiddamu okubeerawo.
O juízo final
No dia do julgamento, os livros serão abertos. Quem não for encontrado no Livro da Vida será lançado no lago de fogo.
Abafu Balamulwa
Awo ne ndaba entebe ey’obwakabaka enjeru n’Oyo eyali agituddeko. Ensi n’ebbanga ne bidduka okuva mu maaso ge, naye nga tewali we biyinza kwekweka. Ne ndaba abafu abeekitiibwa n’abatali baakitiibwa nga bayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka. Ebitabo ne bibikkulwa, n’ekitabo ekirala ky’ekitabo eky’obulamu ne kibikkulwa. Abafu ne basalirwa omusango okusinziira ku ebyo ebyali biwandiikiddwa mu bitabo ebyo, buli omu ng’ebikolwa bye bwe byali. Ennyanja zonna ne ziwaayo abafu abaali mu zo, n’okufa n’Amagombe nabyo ne biwaayo abafu abaabirimu. Buli omu n’asalirwa omusango, ng’ebikolwa bye bwe byali. Okufa n’Amagombe ne bisuulibwa mu nnyanja ey’omuliro, kuno kwe kufa okwokubiri. Era buli eyasangibwa ng’erinnya lye teriwandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu, n’asuulibwa mu nnyanja ey’omuliro.
Tewali ekitali kirongoofu ekirikkirizibwa okuyingira mu kyo, wadde abo abatambulira mu mpisa ezitali nnongoofu oba abalimba, wabula abalikibeeramu, beebo bokka, amannya gaabwe agaawandiikibwa mu kitabo eky’obulamu eky’Omwana gw’Endiga.
Ebiseera eby’Enkomerero
"Mu biro ebyo Mikayiri omulangira omukulu akuuma abantu bo aligolokoka, ne yeeyimirira abantu bo. Waliba ekiseera eky’okubonaaboneramu ekitabangawo okuva ku kutondebwa kw’amawanga. Naye mu biro ebyo, omuntu aliba awandiikiddwa mu kitabo, alirokolebwa. Bangi ku beebase mu nfuufu ey’ensi baligolokoka, abamu eri obulamu obutaggwaawo, n’abalala eri ensonyi n’okuswazibwa okutaggwaawo.
Na buli awangula alyambazibwa engoye enjeru nga bali, era sirisangula linnya lye mu kitabo ky’obulamu, naye ndyatula erinnya lye mu maaso ga Kitange ne bamalayika be nti oyo muntu wange.
O registro divino
Deus registra cada vida, cada lágrima e cada momento. Nada passa despercebido diante daquele que tudo vê e tudo guarda.
Wandaba nga si natondebwa.
Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera
zawandiikibwa mu kitabo kyo.
Emirundi gye ntawaanyizibwa nga njaziirana ogimanyi;
amaziga gange gateeke mu ccupa yo!
Wagawandiika.
Kubanga bayigganya oyo gw’ofumise,
ne boogera ku bulumi bw’oyo gw’olumizza.
Bavunaane omusango kina gumu,
era tobaganya kugabana ku bulokozi bwo.
Bawanduukululwe mu kitabo ky’obulamu;
baleme kulabika ku lukalala lw’abatuukirivu.
Abo abatya Mukama bayogeragana bokka ne bokka, Mukama n’abawulira. Ekitabo eky’okujjukira abatya Mukama ne balowooza ku linnya lye, ne kiwandiikibwa ng’alaba.
Bw’oba osiima basonyiwe ekibi kyabwe; naye bwe kitaba kityo, nkwegayirira onsangule mu kitabo kyo ky’owandiise."
Naye Mukama n’agamba Musa nti, "Oyo yekka ankozeeko ekibi gwe ndisangula mu kitabo kyange.
Este artigo te tocou? Faça uma oração!
+581 estão orando agora.
Junte-se à corrente de oração.